Lutalo
Ooh oh oh
Oba laavu
Nagikola ki?
Enkasuse ebweru
Sikyabisobola

Both
Omukwano nguwe ani atanimbe bannange?
Wanawake niwaongo
Abakazi bafuuka balimba si banaffe
Wanawake niwaongo
Nange ndi ku kanayokya ani?
Wanawake niwaongo
Nguwe ani?
Babe luno mpite ani?
Wanawake niwaongo
Oh oh oh

Evans
Nga nawaalirira nnyo
N’omutima ne nzisaayo
Obusente bwonna ne mbuwaayo
Kyokka omugagga n’amulyawo!
Ah ah
Mu kibuga oba mu kyalo
Amazima baagavaako
Mpulira njagala mbiveeko
Gwe nzijula ntya ne sirya!
Ne gwe nafuna omulala ah
Kyali kikwangala
Bana bana atugattika
Katube bina atupambana
Abakazi ab’embaliga
Nze mbalinamu omukisa
Yegonzanga kumbe
Major General mu bwenzi!

Lutalo
Omukazi nga waakamufuna taba na buzibu
Awulira omuyita ayitaba
Emize gye abeera agikwekerera yerungiya aba nga malayika
Bwe liyita atandika kumaguka
Nga mberenge ayogera atulika
Ng’alinga akwatiddwa ensalika
Apalappalanya aba nga makanika
Ndowooza ŋŋume mpowe
Ndeke omukwano nsigale ppeke
Kuba maze akaseera nga bantulugunya nsula mu ntebe
Akomawo atomera amalebe
Gumukutte emimwa n’ebigere
Ali ku ssimu akuba n’obukule
Ye anywa bunywi okuva ku mmande
Mbu I can stay without you
Ono w’anywa ayogera luzungu ho!

Evans
Nze yankuba katono anzite
Sikulimba
Nga nsula ku ttale
Bw’akkuba n’omuddiza guba musango
Kyenva ŋŋuma n’embale
Nakatinda yanjooga
Lwe yapaala ne Mugisha
Luvannyuma n’ankiina
Mbu nnyimbe ne ku mbaga ha!
Ky’ova olaba mbeera eno
Nzekka lwa nsonga ezo
Ŋŋumira mpewo ekunta eno
Ekiro mu kisenge eyo
Oh ho oh oh

Double Kick
Yaled

Submit Corrections

One thought on “Nguwe Ani Lyrics – Chris Evans x David Lutalo”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *