Intro
Eeh!
Eddie Dee
Kama Ivien
Eeh!

Verse I
Ndikuwa ki gwe eyampa obukuumi?
Ampisa mu bitoomi yegwe ssaabalwanyi
Siriva wooli gwe eyawandiika olutambi
Lw’obulamu bwange byonna gwe agera
Munnange nga bw’ondaba ninga bwendi
Sirina ssuubi walala yegwe ssuubi
Teri kinanema Mukama bw’omba kumpi
Eriiso lyo lirindaba yonna gyendiba

Chorus
Abeekiise makubo ndibawangula
Ndibawangula eeh
Enzigi mu makubo ndiziwangula
Ndiziwangula eeh
Abeekiise makubo ndibawangula
Ndibawangula
Ndibawangula
Enzigi mu makubo ndiziwangula
Ndiziwangula
Ndiziwangula

Verse II
Tumutendereze
Tutendereze Omutonzi
Bwe ntunula gy’onzigye eyo wansi mu bikonge ah
Nina okukwebazanga
Ne bwe mbeera ng’essuubi linzigwamu
Onzijukizanga nti plan zo z’ezisinga
Bwe nkusobyanga lamuza kisaakye
Tondeka kugwayo yadde nga nemwa nnyo
Munnange nga bw’ondaba ninga bwendi
Sirina ssuubi walala yegwe ssuubi
Teri kinanema Mukama bw’omba kumpi
Eriiso lyo lirindaba yonna gyendiba

Chorus

Verse III
Haa aah
Nsembeza
Nteeka kumpi Mukama nsembeza
Haa aah
Nsembeza
Nteeka kumpi Mukama nsembeza

Chorus

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *