Kaŋŋende
Hmmm lwaki tosalawo?
Onnumizza ate toyagala kundeka!
Onkaabizza ate toyagala kundeka!
Onnemerako mazima onjagaza ki?
Ekisinga ku ky’ondaze leero

Ndeka ŋŋende
Tomanya nange ndifunayo anjagala
Ndeka ŋŋende
Kye mmanyi nange ndifunayo anjagala
Ndeka, ndeka
Ezo sorry tezikyalina makulu
Ndeka ŋŋende
Kye mmanyi nange ndifunayo anjagala

Mmwe mutukyayisa love
Ne tufiirwa n’oluusi abandibaddemu amakulu
Tewandibadde ggwe, n’onkola bw’otyo
Kale afazaali wandisibyewo ekigoye
Owoza nkulabe bulabi nsirike nsirika biki?
Ng’oli ku mutima ogulumya
Ndese lwa butaagaane
Tomanya mu dda eyo
Ndifunayo ekisingako ku bino

Ndeka ŋŋende (ndeka, ndeka)
Tomanya nange ndifunayo anjagala
Ndeka ŋŋende (ndeka, ndeka)
Kye mmanyi nange ndifunayo anjagala
Ndeka (ndeka) ndeka
Ezo sorry tezikyalina makulu
Ndeka ŋŋende (ndeka, ndeka)
Kye mmanyi nange ndifunayo anjagala

Ekkomera lya love mw’ontadde
Ewatali kiyambi annyamba
Amaziga g’omukwano ge nkaabye
Singa mazzi ndi byennyanja
Ŋŋamba ssebo tonnumya
Oba wankoowa nkute nkwerabire
Onnumizza ate toyagala kundeka!
Onkaabizza ate toyagala kundeka!
Onnemerako mazima onjagaza ki?
Ekisinga ku ky’ondaze leerooooo
Hmmm uh uh

Ndeka ŋŋende (ndeka, ndeka)
Tomanya nange ndifunayo anjagala (ananjagala)
Ndeka ŋŋende (ndeka, ndeka)
Kye mmanyi nange ndifunayo anjagala
(Ka ŋŋende nze)
Ndeka (ndeka) ndeka
Ezo sorry tezikyalina makulu
Ndeka ŋŋende (ndeka, ndeka)
Kye mmanyi nange ndifunayo anjagala
Kaŋŋende eh

Kaŋŋende eh
Kaŋŋende eh
Kaŋŋende eh

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *