Clark
Hmmm Unusual
Shawa Records

Ex wo talina kuba muyeekera
Nze nalabuka ng’omwana amaze kundekulira
Mutima negundaajaniranga
Nga nkanya kimu gubuuza kiki ekyakutwala?
Bwoba olowooza nti nkuteeka oba nkuwalana
Nenya mutwe gwo kuba ate obwo obudde sifuna
N’akalabo onaatera okukafuna ‘cause once you left
Okwegula mu love kwakoma
Nze sejjusa kuba nga nakulekawo
Yadde kyannuma amaziga nengakaaba nako
Mmanyi tewalumwa kuba eyo nkola yo
Nakuwa mutima ogugwo kkufulu n’osibako
Nze eyakuyisa nga queen owomulubiri
Wawunzika ondese era n’ogenda ne bali
Naye sirina kikyamu kyenkukonjera
Okujjako okugamba weebale kunva mu lify

Nayiga, nayiga, nayiga
Okubaawo wootali
Nayiga, nayiga, nayiga
Nti ne mu love bambi abafere ntoko
Nayiga, nayiga, nayiga
Okubaawo wootali
Nayiga, nayiga, nayiga
N’obuteemalaamu mu love

Kale n’obubonero bwaliwo
Kwenandirabidde entuufu color zo
Naye love yajja yeefuga akafo
Mwenanditudde olengera ku kiddako
Nkwebaza okuba nti wandekulira
Wadde wayonoona obudde nga ndi mu kizikiza
Nalowooza ninawo omwagalwa
Nga n’abaneetega mu bonna bonna teri gwenzikiriza
I can fail to remember you
But not to hate you
You made me think like just a fool
Kumbe love yo nfu
Nava mu kateebe kanzine ku ndongo yange
Yadde wakosa omutima gwange
Mukwano gwo yali prioty yange
Gwe n’onsasula ganza ku kyali wange

Nayiga, nayiga, nayiga
Okubaawo wootali
Nayiga, nayiga, nayiga
Nti ne mu love bambi abafere ntoko
Nayiga, nayiga, nayiga
Okubaawo wootali
Nayiga, nayiga, nayiga
N’obuteemalaamu mu love

Ex wo talina kuba muyeekera
Nze nalabuka ng’omwana amaze kundekulira
Mutima negundaajaniranga
Nga nkanya kimu gubuuza kiki ekyakutwala?
Ebintu by’omukwano bigeze kusubula
Kuba tusaayo mitima agula y’amanya ky’azzaako
Nze gwenalina yaŋŋamba teri gweyeguya
K’obe ng’akasente ko omuwaako
Nakimanya nenegumya nga ndowooza lulikya
Girl ebirowoozo anziseeko, naye byabula
Kati mmanyi mu love mulimu ba gambler
Nze nagwa ku gambler muwala gwe
Teri akusobola, aaah aah

Nayiga, nayiga, nayiga
Okubaawo wootali
Nayiga, nayiga, nayiga
Nti ne mu love bambi abafere ntoko
Nayiga, nayiga, nayiga
Okubaawo wootali
Nayiga, nayiga, nayiga
N’obuteemalaamu mu love

Na na aaah
Eeeh eeh
Na na na aaah

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *