Namakula Lyrics – Mesach Semakula

Ssenkusigule nkusigule
Bwe biba bikukanula anoonya kkubo
Abakuwaga bakutomeza ssi banno bo
Wuliriza nnyabo
Balinda lw’oligwa
Namakula
Obulali bakube
Namakula
Baagala osumagire
Namakula
Ebibyo basomole
Wano baba bapika nti abasajja tuvume
Oluba okutuuka ewaka owuwe n’abikka
Nga gwe owuwo osuza ku maziga
Nga ye owuwe eka bw’abikka

Namakula, Namakula
Tokola ebituwemula by’olimu baaba
Oyo folofotto
Namakula, Namakula
Tokola ebikulalula by’olimu mwattu
Oyo folofotto
Vva mu bya ffolo
Folofotto
Obulamu kintu kikulu
Folofotto
Ggya omutwe ku pillow
Folofotto
Sisimuka mu tulo
Folofotto

Ogamba abakwegomba ntoko
Nti ono omu takumalira budde
Obuzibu bakwegomba olinako gy’oli
Kakutande oveeyo olabe
Kale tuleke eky’okukwegomba
Naye ekibi tebeegomba gwe wekka
Bye bakuwaana ku luli
Bye bawaana ne bali
Bwe bakola bwebatyo
Gwe tobalaba obukindo
N’okutuka akakondo
Tomanyi ngoye bye zibikka
Tolaba okukaza emmunye
N’olowooza nti ofunye
Tomanyi mibiri bye gikweka

Ogamba oli mulungi kaalaala
Naye abalungi nga baayala
Ekirala obulungi tekyali guarantee
Nti obufumbo olina
Ogamba nti enkula yo kaalaala
Buli gy’oyita bawaawaala
Obuzibu abalungi kati mulinga munnyo
Buli nnyumba osangayo
N’abamu badibira ku makubo
Kyokka nga figure muzigo
Gwe totunula ku kasusu
N’akazigo mu mannyo ne weerimba
Nti obirina wekka

Ebyo by’owoza nti seguya musajja mwanyinaze
Ebyo by’owoza nti n’e Buwaate sigobwangayo he he
Ebyo ebikusigula nti Semakula ndi wa linnya, wulira oh
Ebyo by’owoza nti ofukamiza abaami, Namakula
Yonja amaka go vva mu folo-fotto
Yonja omwami vva mu folo-fotto
Fumbira omusajja Namakula tolekera bakozi
Yonja abaana Namakula, tolekera bakozi
Egyo emikwano egitagasa
Egyo emikwano egitagasa nnyabo gite
An eye for an eye
Mu bufumbo tebikola

Submit Corrections