Watch the Video Version here

Ayi
Aayi

Waliwo ekinennyamizza
N’omutwe negumbobbabobba
Lwaki omuntu gw’olina
Omuzannyisa omugalabanjanga?
Bye nzimba byandijunye gwe
Naye omulabe yeyambisa gwe kale
Ow’ewala y’ansuuta
Naye owange gw’annafuya kale!
E Busoga bangulika lya Ngobi
Mu Arua, bampita Obiny
E Mbale bankubira akadodi
Naye owange gw’ankuba endippo!

Nalumansi tonkaabira
Bw’ogwa mu nsasagge weekaabire
Nalumansi tonnyiigira
Bw’ogwa mu nsobi gwe, wenyiigire
Nalumansi don’t cry for me
Bw’oswala ewammwe don’t cry for me
Nalumansi what’s wrong with you?
Bw’olemwa okusalawo what’s wrong with you?

Ayii!

Nalumansi kyoba omanya
Twogedde ebigambo biweddeyo
Era nze kyenkakasa
Tewali ky’okola kyotamanyi
Lwaki okukuta n’ogusajja ogwo?
Ng’okimanyi ogusajja gubbi!
Oba kye muliko kituufu
Lwaki tokissa mu lwatu?
Omuntu ajooga abantu bo
N’omala n’omunywegera gwe!
Bwaba yakuwa maja yogera
Tumanye nti oli wa kugula buguzi
Bwaba yakugula tukimanye
Nti by’oyogera obeera ofera bufezi
Okimanyi akukeneka
N’okkiriza akweyambise gwe?
Nga bwe yakola baganda bo
Ba Betty ne ba Robinah
Manya nti otunda bantu bo
Abantu bajja na kuvaamu

Nalumansi tonkaabira
Bw’ogwa mu nsasagge weekaabire
Nalumansi tonnyiigira
Bw’ogwa mu nsobi gwe, wenyiigire
Nalumansi don’t cry for me
Bw’oswala ewammwe don’t cry for me
Nalumansi what’s wrong with you maama?
Bw’olemwa okusalawo what’s wrong with you?

Bino bye njogera nze mmanyi
Obimanyi lwakuba weewunza
Wali wa maanyi nga bonna obakira
Kiki wefeebya?
Ku lw’abantu bo ddamu ku nsonyi
Ekitiibwa kigenda
Abantu abo lwa kweyerusa
Ssi beerufu nnyo
Ate nze gw’olaga enzikiza
Yenze akulumirirwa okkamala
Oyo ssente z’akuwa okkugula
Atunda bibyo jjukira
Akuwa money
Alinga agamba oli wa ggula buguzi
Naawe olulunkana
Olinga kalooli ng’erwanira ebinyama
Ne bannyoko, balaba ng’obaswaza
Takulabawo, akukeneka bukenesi
N’abantu bo, abajerega bujerezi
Buliba buti, alikuleka mu kibira
By’ebyo!

Nalumansi tonkaabira
Bw’ogwa mu nsasagge weekaabire
Nalumansi tonnyiigira
Bw’ogwa mu nsobi gwe, wenyiigire
Nalumansi don’t cry for me
Bw’oswala ewammwe don’t cry for me
Nalumansi tonnyombesa
Bw’olemwa okusalawo, weeyombese

Ayii!

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *