Nali muto
Kati nkuze ku byenzize ndaba
Nga Mukama ddala alina amaanyi
Ku bantu
Naddala abo abamukkiriza
Ng’afuba nnyo bafune essuubi
Wadde bayita
Mu kiwonvu eky’ennaku n’amaziga
Akifuula eky’essanyu eringi
Nga balinnya
Batambula bagenda bwebati
Balyoke bafune essuubi
Tebaabulwenga abanoonya Mukama n’obwesigwa
Nga bafuba okukola by’agamba
Yalayira
Nti aliba akkuse ebyo byeyasuubiza
Kuba yekka alina amaanyi

Tuyimuse
Erinnya lya Katonda omwesigwa
Tumusinze alina amaanyi
Atakangibwa
Atalemwa ng’atandise okola
Erinnya lye nga lya ttendo
Eyo mu ggulu
Abaliyo eyo bakuyimusa
Nga bakusinza olina amaanyi
Kuno ku nsi
Gwe mukwano gw’abo abalina ennaku
Ekitiibwa kibe gy’oli

Neebaza
Mukama ku byenzize nfuna
Mukama ddala alina amaanyi
Ampanirira
N’awugula ebizibu nempona
Ekitiibwa kibe gy’oli
Gwe atidde
Akaaba amaziga sangula
Wulira Mukama ky’agamba
Nti talireka
Abamwesiga abo alibawummuza
Balye ebirungi mu nsi eno
Ekiŋŋumya
By’ebyo Mukama byeyatusuubiza
Ebituwa obuvumu n’essuubi
Nti mu muliro
Ne mu mazzi alitulokola
N’okukirawo tuwangudde

Tuyimuse
Erinnya lya Katonda omwesigwa
Tumusinze alina amaanyi
Atakangibwa
Atalemwa ng’atandise okola
Erinnya lye nga lya ttendo
Eyo mu ggulu
Abaliyo eyo bakuyimusa
Nga bakusinza olina amaanyi
Kuno ku nsi
Gwe mukwano gw’abo abalina ennaku
Ekitiibwa kibe gy’oli

Nze kyemmanyi
Mbu Katonda oyo eyatuyita
Bw’ayogera aba ayogedde
Anywerera, ku bisuubizo byeyatusuubiza
Mu buyinza bwe alina amaanyi
Ssi mwana wa muntu
Okwogera ate n’alemererwa
Ebyo abalyammere byebatulimba
Naye Katonda
Ow’obuyinza alitulokola
Ennaku yo giwe gyali
Biki ebigaanye?
Muyite gwe mu buzibu bwo
Anaakulwanira bw’onosirika
Ekimulema, mu nsi muno nze sinnakiraba
Kuba yekka alina amaanyi

Tuyimuse
Erinnya lya Katonda omwesigwa
Tumusinze alina amaanyi
Atakangibwa
Atalemwa ng’atandise okola
Erinnya lye nga lya ttendo
Eyo mu ggulu
Abaliyo eyo bakuyimusa
Nga bakusinza olina amaanyi
Kuno ku nsi
Gwe mukwano gw’abo abalina ennaku
Ekitiibwa kibe gy’oli

Buli mutendera gw’otuukako ogubeerako lumu
Eyatutonda bweyategeka
Sso n’omukadde aba takyaddayo kuba muto
Nga bwetuyita mu nsi embi eti
Buli mwaka gw’omaze
Guba gugenze togusuubira
N’ebikunyize, biba bigenze
Naye Katonda anyiga ebiwundu n’atuwa essanyu
Obulamu bwo buwe gy’ali
Y’amanyi ebigaanye amanyi amajja n’amagenda go
Ye mukwano gwo, oli nfa nfe
Wadde obukoowu, okuzirika nga bituwalula
Gwetwesiga atuwe amaanyi

Tuyimuse
Erinnya lya Katonda omwesigwa
Tumusinze alina amaanyi
Atakangibwa
Atalemwa ng’atandise okola
Erinnya lye nga lya ttendo
Eyo mu ggulu
Abaliyo eyo bakuyimusa
Nga bakusinza olina amaanyi
Kuno ku nsi
Gwe mukwano gw’abo abalina ennaku
Ekitiibwa kibe gy’oli

Tuyimuse
Erinnya lya Katonda omwesigwa
Tumusinze alina amaanyi
Atakangibwa
Atalemwa ng’atandise okola
Erinnya lye nga lya ttendo
Eyo mu ggulu
Abaliyo eyo bakuyimusa
Nga bakusinza olina amaanyi
Kuno ku nsi
Gwe mukwano gw’abo abalina ennaku
Ekitiibwa kibe gy’oli

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin