Yesu yansanga mu nsi eno
Nga binsobedde nga nnoonya omuyambi
Yaŋamba bwati mwana wange
Jangu eno nkwagala
Neekanga nnyo olw’endabika yange
Kubanga yali mbi
N’antegezaako kitange
Nti nange nsaanira
Bwentyo ne ngoberera oyo
Ankoze bulungi ekitiibwa akigwana

Nali mmanyi
Mukama b’akolera ebinene baba banene
Nedda aah
Mukama akebera mitima munda
Ng’anakkolera tomanya

Nali mmanyi
Mukama b’akolera ebikulu baba bakulu
Nedda aah
Mukama akebera mitima munda
Ng’anakkolera tomanya

Nga mmanyi
Nti oba akolera bano abaasoma ebitabo
Maama nedda aah
Yesu gwe wasenga mulungi
Tasosola mu bantu

Nali mmanyi
Yesu akolera bano abavuga ennyonyi
Maama nedda, ng’anakkolera ojja kulaba
Abadde omunaku bakutuuze n’abalangira

Tokoowa Mukama awulira
Essaala, eri abo abasaba
Mukoowoole, akyuse embeera
Muyite aswaze abalabe bo
Bible eyogera ku mukyala
Erinnya lye Kaana, eyali omugumba
Yasiibanga mu maziga
Ng’akaaba Peninah amuli bubi
Peninah n’alangira Kaana ebbanga ddene
N’akoowa embeera
Ne yeegayirira Mukama
N’amuwa omwana, owoobulenzi
Bwe yazaala omwana, aah yazaala nabbi

Nali mmanyi
Mukama b’akolera ebinene baba banene
Nedda aah
Mukama akebera mitima munda
Ng’anakkolera tomanya

Nali mmanyi
Mukama b’akolera ebikulu baba bakulu
Nedda aah
Mukama akebera mitima munda
Ng’anakkolera tomanya

Nga mmanyi
Nti oba akolera bano abaasoma ebitabo
Maama nedda aah
Yesu gwe wasenga mulungi
Tasosola mu bantu

Nali mmanyi
Yesu akolera bano abavuga ennyonyi
Maama nedda, ng’anakkolera ojja kulaba
Abadde omunaku bakutuuze n’abalangira

Ebizibu bingi ebikulondoola
Mu bulamu mw’oyita
Osaana okimanye nti
Oyo Mukama gwe wasenga asobola
Bw’otunuulira Dawudi yali mwana muto
Nga buli omu amunyooma
Mukama n’amukolera ebikulu
Li Goliyaasi, yalikuba ne ligwa eri
Lyali ddene nnyo, nga ggwanvu, nga ggulumivu
Olwakimanya nti akebera mitima munda
Ye yakwata nvuumuulo

Nali mmanyi
Mukama b’akolera ebinene baba banene
Nedda aah
Mukama akebera mitima munda
Ng’anakkolera tomanya

Nali mmanyi
Mukama b’akolera ebikulu baba bakulu
Nedda aah
Mukama akebera mitima munda
Ng’anakkolera tomanya

Nga mmanyi
Nti oba akolera bano abaasoma ebitabo
Maama nedda aah
Yesu gwe wasenga mulungi
Tasosola mu bantu

Nali mmanyi
Yesu akolera bano abavuga ennyonyi
Maama nedda, ng’anakkolera ojja kulaba
Abadde omunaku bakutuuze n’abalangira

Mwesigwa, mwesigwa Mukama
Mwesigwa tasosola mu baana be
Amaziga go, agalabye
Mwesigwa tasosola mu baana be
Essaala zo, aziwulira oh oh
Mwesigwa tasosola mu baana be
By’oyagala y’abimanyi
Mwesigwa tasosola mu baana be
Eh tasosola oyo Mukama
Mwesigwa tasosola mu baana be
K’obe mumpi oba muwanvu
Mwesigwa tasosola mu baana be
Jjukira yalwanira Dawudi, eh eh
Mwesigwa tasosola mu baana be
Danyeri yamuwanguza
Mwesigwa tasosola mu baana be

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *