Mu ggwanga lya Uganda
Mulabiseemu nabbi omukazi
Akuuma Yisirayiri tabongoota
Ate era teyeebaka
Mukama atwagala nnyo kwe kutusindikira nabbi
Ono alagula akulaga mukwano gwo endowooza ye
N’abalabe bo byonna bye baakola obimanya

Nabbi Mukama waffe yeebazibwe
Tusaba tulagulako olabe ekitubonyabonya
Nze ne baganda bange

Munda ya nnyammwe mwenna abaana muzunga buzunzi
Okuva ku mukulu okutuuka ku muto mukuba miranga
Yali muka kitammwe omuto
Y’eyagenda ku muganga
N’abaloga musiraane
Yeddize bulungi ebintu
Kati abaana be be baganzi awaka
Mmwe mufuuse nseko za kyalo
Naye Katonda atalya nguzi
Nga bwendi nabbi wa Mukama
Embeera gye mulimu ssi ya kufa
Yesu olukwe aluguddemu
K’acankalanye abalabe bo
Yabaloga kuzunga
Naye ababe ka bafe bufi mubaziikeko

Nabbi naffe tusabireko
Omwana ono omulaba?
Atubonyabonyezza nze ne mukazi wange
Bw’alwala, nga nange ndwala
Ekitegeeza bw’anaafa
Nange olwo mba nina kufa
Kubanga gwe nina yekka
Ate mmwagala nnyo

Waliwo ekintu eky’obulabe nze kye ndaba
Nga kiri mu maka go
Nze ndi nabbi
Njogera Mukama ky’andaze
Ndaba emizimu gy’Ekika eky’Engeye nga gibanja omwana
Omwana omwagala nnyo naye ssi ggwe taata we
Jjukira olunaku lwe wali safari ey’e Karamoja
Oyo mukyala wo lw’awakula olubuto nnabe namutta
Yali neighbor wo eyayita mu kkubo ery’emmanju
Lagira mukyala wo atwale omwana ewaabwe w’omusajja
God bless you

Nabbi ondaba?
Olowooza nina emyaka emeka?
Amakumi ago, ana!
Naye ekiyitibwa omusajja yambula

Gwe gy’osibira enviiri zo baazikubbako
Ebyo ebikutambula omubiri gwonna ago mayembe
Oyina n’ekikkozesa ng’omusajja mu budde bw’ekiro
Ky’ekyakuleetera n’okubulwa omwami okufumbirwa
Embeera omubiri gwo yakuuliita nagwo kati oli mugangatika
Wakyawa n’endabirwamu mbu ekuvuma sso tekulimba
N’ekyali kikutunda ge mabeere gaafuuka ssapatu
Weeyune ekkanisa osabirwe
Yesu akuwe omulenzi omuto
Amabeere ge bakuvuma mbu sitokisi nga ye alaba ttutu
Mukama amuzibe amaaso enkanyanya ezo nga zo takyaziraba
Alyoke akukube embaga mawuuno mu linnya lya Yesu
God bless you

Mu ggwanga lya Uganda
Mulabiseemu nabbi omukazi
Akuuma Yisirayiri tabongoota
Ate era teyeebaka
Mukama atwagala nnyo kwe kutusindikira nabbi
Ono alagula akulaga mukwano gwo endowooza ye
N’abalabe bo byonna bye baakola obimanya

Nabbi Mukama agulumizibwe
Munnange tulina embeera embi
Gye tuyitamu nze ne mukazi wange
Naye tetumanyi kwe kyava
Tusaba kutusabirako

Ggwe bwe ntunuddemu mu mbeera zo
Ng’oli bubi nnyo
Omuntu eyalina emirembe gyo
Kati odaaga budaazi
Buli ky’ogezaako mbu okole
Owunzika ng’ofiiriddwa
Ssente zikuyita buyisi mu ngalo
Omwaka ogumalako otyo
Ekirala, Mukama ky’andaga
Waliwo n’amakubo ggwe ge wafiisa nsonga y’amabanja
Ate ekirala, era Mukama ky’andaga
Ono yali mukyala bwe mwakola ebintu by’obugagga
Yakusanga mu bwavu obuzibu
Ne yeesiba ekikubiro n’aguma
Walina bingi bye wamusuubiza ggwe
Ensimbi olwawera n’omusuulawo n’omulangira obukadde
N’ogenda ne Nabuuma eyakumetta ebyo ebisiraani
Sso ng’omukisa omwava obugagga bwo
Gwali gw’oli mukyala wo
Mukama akugambye nti weenenye ove kw’eyo enkwayaaju
Okomyewo mukyala wo mu bugagga bwe
Weeyambuleko ogwo omusege

Nabbi nsaba kunsabirako
Omusajja wange yambulako
Naye njagala akomewo
Ategeere ddala nti nze mukazi we owaddala

Gwe ensibuko y’amaziga mangi
Lwa mpisa zo mbi
Mukama andaga omukyala mukwano gwo
Gwe wanyagako bba we
Amaziga g’omukyala oli
Ge gakufuukidde omuteego
Kuba ndaba waleeta muganda wo
Naawe n’amukubbako
Ate gukyalanda nnyo n’ako kato ko tekeeyibaala
Omusajja mwabba mubbe ajja kuddayo gye yasookera
Kati ne bw’okola otya tayinza kukuddira
Ky’osiga ky’okungula kati naawe k’olumwe obujiji
Ky’ekiseera kyo weenenye
Omusajja w’oli omute
Osabe Katonda omulamu
Mukama akuwe omusajja owuwo
God bless you

Mu ggwanga lya Uganda
Mulabiseemu nabbi omukazi
Akuuma Yisirayiri tabongoota
Ate era teyeebaka
Mukama atwagala nnyo kwe kutusindikira nabbi
Ono alagula akulaga mukwano gwo endowooza ye
N’abalabe bo byonna bye baakola obimanya

Nabbi ebintu binsobedde
Nina ebintu ebijja
Ne binnumba ne bintuga ekiro
Ate ekiraalo kyange
Neekanga bwekanzi ng’ente zonna zifudde
Simanyi kwe kiva

Ggw’obadde osigazizza ennaku ssatu okuva mu nsi muno
Lwa bulogo, Mukama ambikkulira
Nti watunda n’ebibyo ogule amayembe otte mukaamwana
Kankubbireko alina Pastor Yiga e Kawaala
Kyova olaba nga buli by’osindika ate biddira gwe
Osaaganga ne gwe wali osaaze naye olwo olujjukiranga
Vvuvumira lyatya omunnyango nsonga ya kulyokya
Yesu Omunazaareesi y’akkozeeko okutuusa lw’ozze wano
Leeta ebintu ebyo by’okebwe
Osenge obulamu obupya
Nkuwadde ennaku bbiri bweziti nga weenenyezza dda
Nabbi mbasiibula
Olulala mukwatanga obudde
Abafisse temwerariikirira lwe ndidda ndisookera ku mmwe bbaayi
God bless you

Mu ggwanga lya Uganda
Mulabiseemu nabbi omukazi
(Yavudde ludda wa oyo?)
Akuuma Yisirayiri tabongoota (yeee)
Ate era teyeebaka
Mukama atwagala nnyo kwe kutusindikira nabbi
(Mukama weebale)
Ono alagula akulaga mukwano gwo endowooza ye
(N’amwanika obusenso)
N’abalabe bo byonna bye baakola obimanya (yeee)

Mu ggwanga lya Uganda
Mulabiseemu nabbi omukazi
(Yavudde ludda wa oyo?)
Akuuma Yisirayiri tabongoota (yeee)
Ate era teyeebaka
Mukama atwagala nnyo kwe kutusindikira nabbi
(Mukama weebale)
Ono alagula akulaga mukwano gwo endowooza ye
(N’amwanika obusenso)
N’abalabe bo byonna bye baakola obimanya

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *