Ennyimba Z’omukwano Lyrics – Mowzey Radio

Tunula labayo omukwano
Bwe gutandise okumenyeka
Enkovu ezaali ziwonye
Ozizeemu n’oyuzaayuza
Neeruma n’olulimi juuzi wano nga twogera
Mbu abalungi baggwaayo ogumidde ku nze,
Omuntu omu
Singa nali nina amagezi
Agakulekawo ne kikoma awo
Gano amaziga ge nkukaabira
Ne nefunirayo agasangula
Okwagala nnaku obulwadde
Olukukwatako tebiwona
Mazima obeerera ddala
Ng’eyalwala kookolo okulemala, aah
Tuula twogere omulundi gwe gusembayo
Nzijukiza olunaku mu ddoboozilyo
Nyimbira akayimba akaali kaliko ooh, yeah

Ennyimba z’omukwano zinnyiiza
Ziwaanawaana nnyo abaagalana
Ne bwenziba amatu era zinnoonya
Simanyi oba leero naakeesa!
Nakyawaganye ne gwe twagalana
Anyiiziizza omutima gumpalana, eeh

Mukwano sirina ssuubi walala yeggwe gwe nina
N’abali basaba date beerekerayo nabamenya
Aah ng’obadde onjagala ani atamanyi?
Wanzigya ne ku mmeeza
Wansalamu mu kifaananyi, yeah yeah yeah
Kino, naawe olinoonya abakutuulira ne babula
Nga nze akwagala onsudde awo
N’owakankula abaalemwa
Nina essuubi gy’oli okuva luli
Gwe ne bwe neebaka
Ne nnemwa okuzuukuka
Kankutonere akalabo olilabangako
Ojjukire akatebe kenatuulako
Okwagala kuba nkulaba bwe kusaanawo, yeah

Ennyimba z’omukwano zinnyiiza
Ziwaanawaana nnyo abaagalana
Ne bwenziba amatu era zinnoonya
Simanyi oba leero naakeesa!
Nakyawaganye ne gwetwagalana
Anyiiziizza omutima gumpalana, eeh

Submit Corrections