Tunula labayo omukwano
Bwe gutandise okumenyeka
Enkovu ezaali ziwonye
Ozizzeemu n’oyuzaayuza
Weeruma n’olulimi jjuuzi wano nga twogera
Mbu abalungi baggwaayo ogumidde ku nze
Omuntu omu
Singa nali nina amagezi
Agakulekawo ne kikoma awo
Gano amaziga ge nkukaabira
Ne neefunirayo agasangula
Okwagala nnaku obulwadde
Olukukwatako tebiwona
Mazima obeerera ddala
Ng’eyalwala kookolo okulemala, aah
Tuula twogere omulundi gwe gusembayo
Nzijukiza olunaku mu ddoboozi lyo
Nnyimbira akayimba akaali kaliko ooh, yeah
Ennyimba z’omukwano zinnyiiza
Ziwaanawaana nnyo abaagalana
Ne bwe nziba amatu era zinnoonya
Simanyi oba leero naakeesa!
Nakyawaganye ne gwe twagalana
Anyiiziizza omutima gumpalana, eeh
Mukwano sirina ssuubi walala yeggwe gwe nina
N’abali basaba date beerekerayo nabamenya
Aah ng’obadde onjagala ani atamanyi?
Wanzigya ne ku mmeeza
Wansalamu mu kifaananyi, yeah yeah yeah
Kino, naawe olinoonya abakujulira ne babula
Nga nze akwagala onsudde awo
N’owakankula abaalemwa
Nina essuubi gy’oli, you’ll pardon me
Gwe ne bwe neebaka
Ne nnemwa okuzuukuka
Kankutonere akalabo olirabangako
Ojjukire akatebe ke natuulako
Okwagala kuba nkulaba bwe kusaanawo, yeah
Ennyimba z’omukwano zinnyiiza
Ziwaanawaana nnyo abaagalana
Ne bwe nziba amatu era zinnoonya
Simanyi oba leero naakeesa!
Nakyawaganye ne gwe twagalana
Anyiiziizza omutima gumpalana, eeh
Weluuma n’oluliimi juuzi wanno nga twogera
And
Nina essubi gyoli
You’re part of me
The writer should check those lines
???????