Nandibadde wa nze
Singa tewali gwe Yesu wange?
Aaah Mukama onjagala
Bwe nalwala walwanyisa sitaani
Eyali yeetegese okuntwala
Aaah Mukama osobola
Amagombe gaali gaasamye n’ogabikkako
Nze omwana wo ne ngawangula
Aaah Mukama onjagala
Kati ekijja kijje nze nsazeewo
Kaŋŋende ne Yesu wange
Aaah aaah
Naagendanga naye (yee)
Naagendanga naye
(Naagendanga ne Yesu)
Naagendanga naye (yee)
Naagendanga naye
(Naagendanga ne Yesu)
Annwanira entalo zange (yee)
Naagendanga naye
(Naagendanga ne Yesu)
Nsazeewo bannange (yee)
Nsazeewo naawe salawo
Naagendanga ne Yesu
Nze by’ankoledde bingi
Ebirabibwa n’ebitalabibwa
Aaah Mukama onjagala
N’ankubira abalabe bange
Abalabika n’abatalabika
Aaah Mukama osobola
Mweyitira mulwanyi wange
We ssisobola nze y’annwanira
Aaah Mukama onjagala
Weebale Yesu, weebale taata
Bwe ssikwebaza mba mulyazaamanya
Bwe ssikwebaza mba mulyazaamanya
(Aaah aaah)
Naagendanga naye (yee)
Naagendanga naye
(Naagendanga ne Yesu)
Naagendanga naye (yee)
Naagendanga naye
(Naagendanga ne Yesu)
Annwanira entalo zange (yee)
Naagendanga naye
(Naagendanga ne Yesu)
Nsazeewo bannange (yee)
Nsazeewo naawe salawo
Naagendanga ne Yesu
Nazuula eddembe lyange
Ensibuko y’essanyu lyange
Aaah Mukama onjagala
Emigugu yagyetikka
Am a walking testimony
Aaah Mukama osobola
Ntambula njulira, walking testimony
Aaah Mukama onjagala
Talwawo Mukama ate tapapa Yesu wange
Aaah Aaah
Am a walking testimony, walking testimony
(Aaah aah)
He!
Aya baasi
We go
Naagendanga naye (yee)
Naagendanga naye
(Naagendanga ne Yesu)
Naagendanga naye (yee)
Naagendanga naye
(Naagendanga ne Yesu)
Annwanira entalo zange (yee)
Naagendanga naye
(Naagendanga ne Yesu)
Nsazeewo bannange (yee)
Nsazeewo naawe salawo
Naagendanga ne Yesu