Kko kko kko kko ggulawo munnange mu bwangu
Fred munno wo nze mpita
Naabawanuka ggulawo tombonyabonyanga
Eky’okkukonkona ettumbi munnange tonyiiga
Okwagala okungi bwekutyo
Baaba nzigulira ondabeko bwe ngudde ku leenya
Kale Katonda by’aleeta bannange togaana
Mbadde ndi ewange neebase
Kwe kuloota abanyazi nga bakwebagazze, kitalo!
Nga maama oli ku kandooya bakulizze wenna
Bakussa mu mmotoka bwebati
Kko nze kankube enduulu eyakabi okutaasa
Naye ate neewunyizza ekimpawamudde ki!
Ne mbaka mmotoka ne nvuga
Na kati wondabira ssirina kye ntegeera, ndabye nnyo!
Kale nno neekebejja nnyo banzinze togaana
Ne nfuna n’ekiwundu kiikino
Omubbi abadde akusika ky’ankubye mu kyenyi
Kamunguluze andi bubi n’okuba ntawaana
Funa ne wonjalira neebake
Omusaayi guggwamu munnange ntaasa aaah
Ate ne Doctor Mugerwa simanyi oba gyali
Ssimu ye eri ttano nnya bbiri
Munnange kubayo ssi kulwa nkuleka ntyo mu nsi
Ndabye ennaku!

Wabula bannange zinsanze nnyo ndabye
Omwana waabendi ajja kugwa eddalu
Ntuuse okukogga nfuuke ebbala
Nze abadde yeerigisa ng’ennyana
N’amaziga g’onkaabizza eppipa
Nga bw’olowooza ky’oba ontanga onzize
Obukodyo bw’osomboola enkumu
Muli omutima gukulimba ki ssebo?
Fred weefuula nnyo mbega
Buli kantu n’okagwirako cover
Wano jjuuzi wankwasa nnyo ennaku
Bwe waŋŋamba nti ogenze eka otemye
Aba defence bakwatiriza osotya
Ng’oli ku kamooli werippye nga nkima!
Awo nze naandikutaddeko mbega
Ne mpona abawala abakukaabira enjolo
Tereera omwoyo Fred mwana wa nnyabo ssirikuswaza
N’abeeka obandabira nnyo bw’oba otuuse
Sula mirembe mukwano weeraba

Naabawanuka ggulawo tosibaawo luggi
Ye nze bannange nga ndabye
Ebisumuluzo eby’eka mbadde mbyerabidde
Oba nga gwe toobirabe maama totawaana
Nze kanzije mbinoonye weebake
Ngya kukuyita oggalewo munnange ŋŋende
Ng’eno bw’okuba ne mutima ku ki kyendi mu nsi
Ng’osaasira abazadde abanjola
Nti omwana w’omukazi gye musindika wa?
Leka kweyitira nsobi ate z’olyejjusa mu dda
Nze bwe ngwa ku ttabbu oba olabye
Abantu be nsanyusa obadda wa kale gwe?
Gwe bw’ontunuulira ki muli kye ndowooza munda?
Oba nga tonjagala nga ndabye
Ani abonyabonya munno nootonnumirwako!
Sso ng’ebirungi by’ontonera ntera nnyo obisiima
By’ogula n’ensimbi ate enkumu
Naye kino ekyangu ennyo n’olemwa okiteeba, ndabye nnyo!
Kale leka ntere ŋŋende saagala kkunyiiza
Ssikulwa munnange onneetamwa
N’okuba njogedde nnyo munnange nsonyiwa
Nsaba nnyabo nkusiibule
Naabawanuka weeraba!

Lwaki bbaayi ogimpeerezza onyolwa?
Kindaze nga gwe agenze ajjudde ennaku
Omuntu kale eyandiwulidde essanyu!
Olw’okunsanga nga ndi mulamu ntemya
Kye manyi waliwo ensonga gy’olese ebbali
Wandigiŋŋambye ne ngisalira eggezi
Manya nti nange lwe ssikulabye nnumwa
Lwa kusiba mutima ne mbeera ng’atatya
Bwoba onkyaye ombuulirangako totya
Kisinga lwotolaga n’ojja onkubisa empisa
Kati wuuyo ogumbye mu luggya otemya
Nazza gwaki ogwo ogunkommonsa empewo?
Leka oti maama ne nkwamukako ssifa
Tebugenda kukya nga ntunula ng’engabi
Kati kiri gyoli okwanja ekisibye empina
Oba otuuse obandabira nnyo ssebo
Wabula munnange onzigalirawo
Kasita gwe wabiroose akasajja kaneetisse olaba
Sula mirembe

Kale olwo omuntu ansanga ky’andowooleza ki?
Atema n’obulali n’akuba
Naye nga bw’olowooza ennyo ekinsekereza ki?
Ate ng’abanfaananako be ndabye nkuyanja
Nga bagwa mu ttuluba bwerityo
Gwe balya n’aggwamu mpaawo ky’ayatudde
Abo abaguzi ba soda ne beer ssitenda
Ba mwana wabandi muwe nkoko
Naye ng’ekimwekutuza taakigambe muntu
Omulala avuma muvume n’amunyoolanyoola
Zonna zonna ezo era nsonyi
Anoonya w’amutandikira munnange bigaanye
Naye nze luno emigugu siggya kugyetikka
Leero nsazeewo nsuule ensonyi
Gubula aseesaamu osanga guzikidde
Naabawanuka vvaayo tondekera kyama
Oba onvuma buvumi gw’olaba
Naye mu mazima ekituufu kiikino jangu nkikuwe
Obwedda tolaba olulimi okwesiba
Onsonyiwe okulimbalimba ntyo
Nzikiriza nsule wooli omwagalwa
Naye omukwano gunsusseeko
Sso nakulabye nga weemoola
Naye ne simanya kigendererwa
Obwedda ekimbonyabonya kko nze ataalaze
Nga bulijjo nti oba ngya kujja eyo
Omukwano mugwagwa onfudde ekyetere
Nzenna ekitiibwa kinzigweddemu
Fred eby’ekitiibwa byerabire
Love tekulinda kweteesa
Naye mu mazima bw’oba watendenkwa
Tonninda kudaagananga ntyo
Ate ng’ekirala omanyi nina ensonyi
Ne bye njagala nkona bukonyi
Nzenna ndi wuwo tewetyanga
Ekibi butamanya kiri mu mwoyo
Ku maaso nkiraga naye okukyatula
Munnange nga kizibu nnyo nze
Awo kye nva nkusaba ofune obutendeke
Osome ebbaluwa eyomubbaasa
Ngisoma emirundi mingi naye
Gwe y’ekikwesibya wabweru ki?
Onjiiyizanga emikwano bwegityo
N’ossa ku ssowaani ey’ebbumba maama
N’otulo twennina tusuffu nnyo (woowe)
Ate ne by’onyumya tebiggwayo
Wadde tuyingira mu mutima nswaluse
Bannange naalabika ntya nze maama?
Ani atalina amulovinga?
Oyo anaaseka nti kivve nnyo?
Doctor bw’ansanga enkya mwetondere
Naalaba okuswalaswala nze maama!
Fred tokitya mukwano kuba (woowe)
By’ebizibu ebisangwa mw’eno ensi
Wadde tuyingira mu mutima nswaluse
Enkya nze naalabika ntya oba maama?
Ani atalina amulovinga? (woowe)
Oyo anaaseka nti kivve nnyo?
Doctor bw’ansanga enkya mwetondere
Bannange nze ani an’antwala maama!
Fred …

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *