Hullo kojja
Kiki?
Nina kye nkugamba mpulirizaako
Lwaki okedde okunkubira essimu ku makya kuno?
Katini (eh!)
Katini katini (aah ah)
Naloose muzeeyi afudde eh
Toyinza kunzuukusa ku makya
N’ombuulira eby’ekisiru ng’ebyo
Naloose muzeeyi afudde eh
Mukubireko, mukubireko
Olabe oba akyali mulamu
Naloose muzeeyi afudde eh
Gyali mu kyalo
Naloose muzeeyi afudde eh
Njagala kwebaka otulo tunnuma, ah
Aah ah
Kiki ki ekikutwanya?
Gw’olowooza nti nsaaga, aah
Muzeeyi gyali talina buzibu
Ebirango byayise ku T.V ne ku radio
Nti ategeddeko ategeeze ne muganda we
Wa kuziika munaana
Okugenda emitwalo munaana
Enkya nga munaana
Mube ne mask temukuŋŋaana
Kyabadde wali kibuuze Almighty
Principal yalinnye ku ya mayiti
Naziise nga siri na mu ssaati
Nga siri na mu ssaati
Naloose muzeeyi afudde eh
Toyinza kunzuukusa ku makya (towakana)
N’ombuulira eby’ekisiru ng’ebyo
Naloose muzeeyi afudde eh
Mukubireko, mukubireko (towakana)
Olabe oba akyali mulamu
Naloose muzeeyi afudde eh (towakana)
Gyali mu kyalo
Naloose muzeeyi afudde eh (towakana)
Njagala kwebaka otulo tunnuma, ah
Aah ah
Kiki ki ekikutwanya? (towakana)
Gw’olowooza nti nsaaga, aah
Muzeeyi gyali talina buzibu (towakana)
Mu kirooto muzeeyi yagiriddewo
Abasiraamu tebalwawo baasimiddewo
Emikwano n’eŋŋanda era baabaddewo
Abatamiivu bookukyalo baasomeddewo
Tebalwawo nkugambye baawandiddewo, ooh
Omugenzi abadde n’olugezigezi
Kati mutugambayo ki?
Kitalo kitalo yatamye namwandu
N’atuviira yakaabidde mu nju
Tuba tuli awo abaana boomunju
Baayingidde nga bakuumwa bumundu
Naloose muzeeyi afudde eh
Toyinza kunzuukusa ku makya (towakana)
N’ombuulira eby’ekisiru ng’ebyo
Naloose muzeeyi afudde eh
Mukubireko, mukubireko (towakana)
Olabe oba akyali mulamu
Naloose muzeeyi afudde eh (towakana)
Gyali mu kyalo
Naloose muzeeyi afudde eh (towakana)
Njagala kwebaka otulo tunnuma, ah
Aah ah
Kiki ki ekikutwanya? (towakana)
Gw’olowooza nti nsaaga, aah
Muzeeyi gyali talina buzibu (towakana)
Ku ssaawa y’omusika
Nkugambye buli omu n’asituka
N’abakulu boomukika
Nga bawakanya omugenzi ekiraamo kye
Abadde ssentebe
Mbu n’omusika afuuke ssentebe
Baanyiize nebakanyuga obutebe
A 2Space representing
A Magic One
Tuli luddawa?
A Top Shutter
A Top Shutter Aguan