Ah leero mukwano gwa bangi neesowoddeyo
Nongoose mu bye ndabye ensangi zino
Bibadde binsunza bubi sitereera
Nga n’abamu bibaweze okwetaaya
Abalala batambula bennyamivu
Olw’amayisa agaziŋŋamye mu makubo eyo
Kko nze kankirwaneko
Nammwe bakyala bannange munkwatireko twetaase
Mulimu abasajja abeefudde ekintu omutali
Buli muze ne musalawo ogwetikka
Eriyo n’abakimanyi nti omukazi okukusala mu maaso
Oba oteekeddwa kumukwana
Ekyo no kyandibaddewo abange
Nze naye ekinennyamiza kutusiiya
Tugeze wayise ne bba wo oba muzadde wo
Kale muli n’oggwaamu ak’obuntu
N’ojulira okusaanawo
Nga yemwenyerekesa ng’akumanyi
Gwe osigala oweebuuse
Nze kati nfungizza peti yange
Nwanyise abanaddamu okutusiiya munangwako!
Nga bw’omaze okutereera
Nkusaba osirike era n’amatu oganjazike
Kansooke mbawe ekibuuzo
Bwe kibeera ekiwuka olwo mbabuukeko mwetwale
Simanyi muva waka abaami
Nga kibali mu ntegeka ng’ekibaleese kutusiiya?
Oba kibatembera awo?
Nga buli mukazi ayitawo gwe n’owulira obwetaavu?
Leero twajjirwa abayaaye
Wadde atunula atya yeteekawo okukukwana!
Bw’ogaana okukyama waali
N’alyoka ajerega ng’olwo ky’agoba kukuswaza
Mbu kale laba oyo
Obubi obumujjudde naye takimanyi nnyabo wange
Ate n’okuba kalwadde
Oba kanoonya baakutta nze omu tonfunye kwata gago
Mbu abawala nina
Abakusinga n’ebbeeyi nze sisobola kwegomba
N’otunulira akujerega ng’osobola okumuliisa
Nga n’ewuwe oluusi asiiba
Nga n’olusaati mwali
Lwafa dda ennyonta ekko liri muli lijjudde
Nga bwe ziba siringi
Bw’agula sigala nende n’amanya nti kiwedde
Nze bwe weeyisa bw’otyo
Nkuyita muyaaye era sikubalaamu katoola
Bye mutulanga byaffe Mukama y’eyabituwa
Ne bw’otukijjanya talikyusa, mulabye nnyo
Abatwesittaza bangi nnyo eyo be ndabye
Nze era be bantuusizza okwekyawa
Kati okuyita n’omwana oba omuzade wo
Omutima gukuba mutwe wewuunye!
Kuba ekitiibwa kikufa
Olw’agagambo ge bamokkola n’owulira ng’onnyogoze
Jjuuzi wano lwe twali ne kitange kyatusukkako
Abayaaye baatwesibako twawemuka
Mbu simanya ggyawo ennugu
Lwaki olookera ddeemu ate nga weemanyi okaatuuse?
Mbu eyo ssi size yo
Ssinga omulekera nga ffe wano gwe n’okuba osensebuse
Nawulira obuswavu obw’amaanyi
Ng’ate ne kitange naye antunuulira asonyiwadde
Ffenna ne tutandika okwebwala
Nga bo batulemeddeko tebasalako
Ne tunoonya ekinatutaasa
Ppaka lwe twafuna mmotoka eyatuyambako okubaviira
Naye ddala ki ekikunaawuula
Ojje oyasame makubo nga buli ayitawo omuvvoola?
Njagala mbaggyemu okwewussa
Bye mwogera tebituwa begomba
Kye ndabye temumanyi nkwana
Kuba eky’okunvuma tekinkaka kukuganza
Bwe mba sikusiimye
Temunnenya bakyala bannange mmwe be kikosezza
Nti oba akatale ko nkoonoonye
Naye nze kimpisa bubi era omuntu ansiiyizza
Mu butuufu mulaba ng’ekyonziira
Singa no balondamu abo
Abeekolakola obuntuntu nga ky’agoba kumukwana
Naye mukazi w’abandi
Nga yewogodde nga nze otandikira wa okunsiiya?
Bannamwe babeerayo
Oba nga temubamanyi
Kati no kambaggyireyo engeri zaabwe
Gwe bw’olaba kundi show
Oyo funa w’ozizika nga totawaanye kwebuuza
Kubanga ky’aba anoonya
Gwe omuntu alina obwongo ekimukunamya kyebuuze
Ne siriiti eyitiridde obuwanvu gy’emitego gy’amasika
Naye tomuleka mwetikke
Bano ba nkubye mini
Aba akookoonya anaanyakula amumaleko ekyoyooyo
N’obugoye obw’endabirwamu switch
Oyo aba ayagadde anasula n’anoonya ekyamubula
N’abemenyamenya mbalaba eyo
Ng’asika ebisige amaaso n’afuba okugagonza
Abo oba osika kutu kiri gyoli
Ekyo bo tekibawa kwekanga
Naye nze aliddamu okunsiiya
ndimukolako obulabe n’obusajje bwe mbwetikke
Mpera!
Nandisabye ebigambo bye njogera
Mubiteekeko nnyo emitima tutangire okweswaza
Naddala ku ludda lw’abaami kambayambeko nnyo
Mu kino ekyabalema okutegeera
Mweggyemu endowooza eyo
Nti omukazi wabeera, kya tteeka okumukwana
Mukimanye tulina n’ebbeetu okukkiriza oba ogaana
Ekyo ky’oba onsabye okukuyamba
Bwe mba sisobodde kinsonyiwe
Eky’okunvuma tekinkaka kukuganza
Era nga n’obuteepimira
Ky’ekimu ekizadde akabasa mugezeeko okyekuumanga
N’okupapa okuyitiridde oluusi kibeera
Kya bulabe nnyo mwandifubye okyekenneenya
Lumu olyesanga oweebuuse
N’omokkola ebitasaanye awali abantu
Lumu olyesanga oweebuuse
N’omokkola ebitasaanye awali abakadde
By’ebyo ebibadde binkeeta
Nga bwe mumaze obifuna nange kanzire ewange
Kaŋende nsange munnange
Omwana wabandi bwe ssibeerawo alwala
Nindirire alitwaŋanga
Atalina matu mpozzi
Leka ndabe alitwaŋanga
Atalina matu ye ani?
Nze ka ndabe alitwaŋanga
Atalina matu mpozzi
Leka ndabe alitwaŋanga
Atalina matu ye ani?
Leka ndabe alitwaŋanga
Atalina matu mpozzi
Nze ka ndabe alitwaŋanga