Mwannyinaze ebigambo bye njogera gyoli
Bw’obibuukako nkikusabye eno toddanga
Bannange embeera za muto wange
Mu butuufu zikulyebula enseko
Oyo omusajja gwe wasalawo nti k’omuganze
Tewaaliwo yamukupangira akukake
Era ffe omuntu gwotuyanjulira
Gwe tulina okuwa ekitiibwa ky’obuko
Erinnya lyaffe kati ly’erifudde gyali
Nze nebwemusanga bye mugamba bya lwokyo
Gwe eyakabunduka amabeere yiiyi!
Simanyi ejjoogo waliggya ku ndagu
Wasooka n’omuteekako omukwano
N’ojja omulowoozesa nti n’empisa zo z’abantu
Wali okulembezanga kwebolya
N’odda kw’oyo bambi n’obonyabonya
Kati wamulekamu kasala kkubo
Ajula na kwetta lw’oba ogambye obisibe
Era munnoowo atunula alozooledde
Bye wamuliisa byamusukkako
Mu kifo ky’okutuula n’okkalira
Obungeeta oli ku mizigo ozunga
Myaka ki egyo egyeyombekera!
Ssekandi bwe nnyomba onnenya kitono
Bwe wali okola bino ddala teweebuuza?
Nti ebinaavaamu binaabanga birungi bisa
N’oddira omusajja n’omweyisiza otyo ffa
Onoonya okutukaabirira gwansinga
Bwe wali okola bino ddala teweebuuza?
Nti ebinaavaamu binaabanga birungi bisa
N’oddira omusajja n’omweyisiza otyo ffa
Onoonya okutukaabirira gwansinga
Nina ne bye nawulira ebikyammenya
Ne ŋamba nti kandabe ekinaava gy’oli
Mbu ddala watandika n’okwetunda!
Leero nnyabo nno baggula mmeka?
Tolina na nsisi ku ky’abasajja bangi
Okitwala ng’agaaya bu orbit ekyo kika
Kw’eno ensi gy’olaba yatankuuka
Kiki olina obulamu bw’oyinyayinya?
Mbu wagufuula na muze okudda ettumbi
Ne gy’oba ova mwami wo gye yebuuza
Bw’oba n’essubi ng’olowooza kwetwala
Ensi ejja kusesebbula obuga
Ate nga n’obunyoomi bwo kkiriza
Tokikola nti lwakuba musajja mwavu
Wandiba n’ebikutankuula
Olaba lumu omuzirira ennyama!
Waliwo lwe yakuwa ne ssente n’ojja oziyuzaayuza
Ng’oyagala nkumu ekyo kibi
Nnyabo teri yazaalwa na siringi zino
Kale siimanga omuntu kyakuwa
Ogenda kunjuliza ne nnyabo mmulumbe
Mu lusuku gye yeebase kati abiguke
Ye yafa agumidde ku kitaffe omu
Gwe ate obwenzi wabuggya kw’aliwa?
Abasajja abasukka mw’omu
Laba bw’obazaalamu omwana n’otuswazaswaza eka
Kale munnange abantu be wagattikanya
Bo baakukyayiza ddala ddala ddala
N’omwana katono omuganzike mu limbo
Nga gw’omusiba …..
Gwe n’ogamba akannenyaako ke k’ani?
Endabirwamu ezaali zibalimbanga
Kazibafungize okutabuka ensusu
Ensi ssi nyangu
Yiga okugondera balo
Nabakulimbalimba n’omugyonyesanga
Omwavu afumbirwa aliwa?
Ogira okyamuyita akasajjasajja naye
Bw’akuggyako engalo ze ojja kukanduka
Gw’obukuluppya bw’olina manya gye bwava
Kijjukire nti gy’emiranga egyo
Kati owoza bufumbo bwantuuka
Ensi emaze okukuyuzaayuza obufi
Mbu lumu yakukwata n’ensiriba
Ssaako n’akabwa akatannazibula nga bw’okatuga
Era kirabika wali mu kwetanga
By’okola okumuyitanga ku nkoto
Bwe ziba endowooza zo nga za kito
Kati otuuse empengere nazo ozikaabira
By’osibya obufumbo kati bya ggalwa
Bino by’oyaayaana ofaanaganako akuba eddubi
Wayunjisa mbazzi akambe n’oleka awo
Baakutuma essanga wakombooza jjembe lya nkula
Ye ate kambuuze
Kiva ku ki okunyumya ebifa mu makaago?
Ne weeziziba n’ekisenge kyo okinyumye?
Oba munnoowo okaka mukake akyuke
B’obigamba olwo banaakuyamba ki?
Neewuunya engeri gye weeyabiza buli gw’olabye
N’okunenyanenya okutaggwaayo
Mikwano gya balo nagyo ddala ogiganze!
Kiki omutikkira migeto?
Ye ku birungi by’akoze akufuule ky’oli
Wamusiimizza jjoogo na mpisa ezo embi?
Wetwale nga bw’oloowoza naye
Ago mavuunika ntamu
Mwana wa taata
Obufumbo buno gubeera mukwano na mpisa
Oba oli wa maanyi
Bwotatya bbaawo obeera kimpeneggu kyennyini
N’obulungi ssi ddya fuba otegeere
Kuba omubi aba n’obufumbo omulungi naabulwa
Bwe wali okola bino ddala teweebuuza?
Nti ebinaavaamu binaabanga birungi bisa
N’oddira omusajja n’omweyisiza otyo ffa
Onoonya okutukaabirira gwansinga
Bwe wali okola bino ddala teweebuuza?
Nti ebinaavaamu binaabanga birungi bisa
N’oddira omusajja n’omweyisiza otyo ffa
Onoonya okutukaabirira gwansinga
Repeat till fade