Mwannyinaze ebigambo byenjogera gy’oli bw’obibuukako nkikusabye eno toddanga
Bannange embeera za muto wange mu butuufu zikulyebula enseko
Oyo omusajja gwe wasalawo nti k’omuganze tewaaliwo yamukupangira akukake
Era ffe omuntu gw’otuyanjulira gwe tulina okuwa ekitiibwa ky’obuko
Erinnya lyaffe kati ly’erifudde gyali nze nebwemusanga byemmugamba bya lwokyo
Gw’eyakabunduka amabeere yiiyi simanyi ejjoogo waliggya ku ndagu?
Wasooka n’omuteekako omukwano n’ojja omulowoozesa nti n’empisa zo z’abantu
Wali okulembezanga kwebolya n’odda kw’oyo bambi n’obonyabonya
Kati wamulekamu kasalakkubo ajula na kwetta lw’oba ogambye obisibe
Era munnoowo atunula alozooledde byewamuliisa byamusukkako
Mu kifo ky’okutuula n’okkalira
Obungeeta oli ku mizigo ozunga
Myaka ki egyo egyeyombekera Sekandi bwennyomba onnenya kitono

Bwewali okola bino ddala teweebuuza?
Nti ebinaavaamu binaabanga birungi bisa
N’oddira omusajja n’omweyisiza otyo ffa!
Onoonya okutukaabirira gwansinga
Bwewali okola bino ddala teweebuuza?
Nti ebinaavaamu binaabanga birungi bisa
N’oddira omusajja n’omweyisiza otyo ffa!
Onoonya okutukaabirira gwansinga

Nina nebyennawulira ebikyammenya
Neŋŋamba nti kandabe ekinaava gy’oli
Mbu ddala watandika n’okwetunda!
Leero nnyabo nno baggula mmeka?
Tolina na nsisi ku ky’abasajja bangi okitwala ng’agaaya bu orbit ekyo kika
Kw’eno ensi gy’olaba yatankuuka kiki olina obulamu bw’oyinyayinya?
Mbu wagufuula na muze okudda ettumbi negyoba ova mwami wo gyeyebuuza
Bw’oba n’essubi ng’olowooza kwetwala ensi ejja kusesebbula obuga
Ate nga n’obunyoomi bwo kkiriza
Tokikola nti lwakuba omusajja mwavu
Wandiba n’ebikutankuula
Olaba lumu omuzirira ennyama!
Waliwo lwe yakuwa ne ssente n’ojja oziyuzaayuza ng’oyagala nkumu ekyo kibi
Nnyabo teri yazaalwa na siringi zino, kale siimanga omuntu kyakuwa

Bwewali okola bino ddala teweebuuza?
Nti ebinaavaamu binaabanga birungi bisa
N’oddira omusajja n’omweyisiza otyo ffa!
Onoonya okutukaabirira gwansinga
Bwewali okola bino ddala teweebuuza?
Nti ebinaavaamu binaabanga birungi bisa
N’oddira omusajja n’omweyisiza otyo ffa!
Onoonya okutukaabirira gwansinga

Ogenda kunjuliza ne nnyabo mmulumbe
Mu lusuku gyeyeebase kati abiguke
Ye yafa agumidde ku kitaffe omu gw’ate obwenzi wabuggya kw’aliwa?
Abasajja abasukka mw’omu laba bw’obazaalamu omwana n’otuswazaswaza eka
Kale munnange abantu bewagattikanya bo baakukyayiza ddala ddala ddala
N’omwana katono omuganzike mu limbo nga gw’omusiba talina ganaabitebya
Leero ate emisaayi emicankalanye tebifudde nno bitalo butalo
Naggamba ebiduula by’abawala byewale gwe n’ogamba akannenyaako ke k’ani?
Endabirwamu ezaali zibalimbanga kazibafungize okutabuka ensusu
Ensi ssi nyangu
Yiga okugondera balo
N’abakulimbalimba n’omugyonyesanga
Omwavu afumbirwa aliwa?
Ogira okyamuyita akasajjasajja naye bw’akuggyako engalo ze ojja kukanduka

Obukuluppya bw’olina manya gyebwava
Kijjukire nti gy’emiranga egyo
Kati owoza bufumbo bwantuuka ensi emaze okukuyuzaayuza obufi
Mbu lumu yakukwata n’ensiriba saako n’akabwa akatannazibula nga bw’okatuga
Era kirabika wali mu kwetanga by’okola okumuyitanga ku nkoto
Bweziba endowooza zo nga za kito
Kati otuuse empengere nazo ozikaabira
By’osibya obufumbo bwo kati byaggalwa
Bino by’oyaayaana ofaanaganako akuba eddubi
Wayunjisa mbazzi akambe n’oleka awo
Baakutuma essanga wakombooza jjembe lya nkula
Ye ate kambuuze
Kiva ku ki okunyumya ebifa mu maka go neweeziziba n’ekisenge kyo okinyumye?
Oba munno wo okaka mukake akyuke b’obigamba olwo banaakuyamba ki?
Neewunya engeri gyeweeyabiza buli gw’olabye n’okunenyanenya okutaggwaayo
Mikwano gya balo nagyo ddala ogiganze kiki omutikkira migeto?
Ye ku birungi by’akoze akufuule ky’oli wamusiimizza jjoogo na mpisa ezo embi?
Wetwale nga bw’oloowoza naye ago mavuunika ntamu
Mwana wa taata
Obufumbo buno gubeera mukwano na mpisa oba oli wa maanyi
Bwotatya bba wo obeera kimpeneggu kyennyini n’obulungi ssi ddya fuba otegeere
Kuba omubi aba n’obufumbo omulungi n’abulwa

Bwewali okola bino ddala teweebuuza?
Nti ebinaavaamu binaabanga birungi bisa
N’oddira omusajja n’omweyisiza otyo ffa!
Onoonya okutukaabirira gwansinga
Bwewali okola bino ddala teweebuuza?
Nti ebinaavaamu binaabanga birungi bisa
N’oddira omusajja n’omweyisiza otyo ffa!
Onoonya okutukaabirira gwansinga

Bwewali okola bino ddala teweebuuza?
Nti ebinaavaamu binaabanga birungi bisa
N’oddira omusajja n’omweyisiza otyo ffa!
Onoonya okutukaabirira gwansinga
Bwewali okola bino ddala teweebuuza?
Nti ebinaavaamu binaabanga birungi bisa
N’oddira omusajja n’omweyisiza otyo ffa!
Onoonya okutukaabirira gwansinga

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin