Gano ge majja ga Defence wa kuno
Abataagamanya leka mwanike
Oba nganyumya mu vernacular
Oba English bambi munnyanukule
Yali mupakasi ku kyalo kya kuli
Ng’ekifuba akirina kiwera
Bwe twalaba kuno empologoma etwefuze
Kwe kuyita Defence, ajje okugigoba
Eyagigoba ebbanga liyise
Era ekiseera kye kyaggwaako dda
Kyokka bw’omugamba boss wummula
Oddeko ewammwe awoza kimu
Mbu ‘nze nagoba empologoma’ yiyi!
Ssebo gundi wummula
Nkwatiraako tebufuuka bumbula
N’Abaganda baagera
Ne gw’ozadde agikuba n’ozina

Munaffe wummula
Buli gye mpitira abantu bagambye baatamwa
Muzeeyi wummula
Munaffe wummula
Ffe twafunye empologoma envubuka ejja okutubbula
Muzeeyi wummula
Munaffe wummula
Buli gye mpitira abantu bagambye baatamwa
Muzeeyi wummula
Wummula
Ffe twafunye empologoma envubuka ejja okutubbula
Muzeeyi wummula

Toyinza kugoba musujja mu nsi muno
Ng’ekyaguleeta tonnaba kukigoba
Tosobola kutereeza ggwanga lino muzeeyi
Nga mu b’okola nabo mwe musinga abakyaamu
Be wasindika ku nnyanja okutereeza eby’envuba embi
Kati baagula n’amaato hmmm hmmm!
Be wasindika ku nnyanja okutereeza eby’envuba embi
Kati be ba nnyini bizinga amaato baagula
Akuggyako ebyennyanja by’ova okuvuba
N’atwala obutimba kko ne engine
Akuleka mu nnyanja e buziba eyo
Nga tolina na nkasi ng’ate amaze okukukuba!
Butemu ki obusinga awo?
Bajja kutereeza mbeera oba kutuzisa?
Ssente z’enguudo zifuluma ku bajeti
Naye lwe baakoze leero enkya osanga lubomofu!
Baatusuubiza amasomero aga UPE
Ag’obwereere ag’okutujuna
Naye omwana w’omunaku osanga akaaba
Mbu ‘bannyimye ebibuujo’ olw’okuba omutwalo
Abantu mubagoba mu butale bwe mubasuubiza
Okubafunira ebifo ebinene ew’okukolera
Abaagobwa mu Parkyard bali mu miranga
Okuva lwe baagobwa ani yali azze okubajuna?
Nabukenya Ritah olunaku lwe yafa
Police Patrol yamutomera okumuzisa!
Naye ebyo byakoma awo, ha!
Footage n’abula, mbu kkamera tezaakola
Wano ebya Kirumira byagenda bityo
Ssiwulirangako nti waliwo eyakwatibwa
Kaweesi ne Kiggundu, nabo bwebatyo
Fayiro zaabwe oba zadda luddawa?
Ssebulime yafiira mu bulumi
Naye ng’ekyamussa era yali fitina
Abaana ba Ssebulime bali mu maziga
Abaamutta abaabwe, bo bali mu masanyu
Kawuma Yasin yafiira mu Arua
Naye bukyanga afa teri alondoola ku bya nfaaye
Kale mweyagale nga ffe tuli mu maziga
Bwe birikyuka, naffe tulirya kamere
Bangi bali mu makomero nga baasibwa
Nga bw’obuuza ekyabasibya mpaawo akyogera
Ekkubo ly’e Kasensero lyafuuka ekikubo
Kyokka emmaali evaayo mugiggyako n’omusolo
Enzige zaatutte wano obuwanana bw’ensimbi
Naye nga ne ze basse ozinoonya n’ozibulwa!
Teargas mumusuubula mu bungi
Kyokka mu malwaliro mulemwa n’okusasula abasawo
Ssente z’abasomesa, buwujjo bwa nsimbi
Naye okubasasula zibeera za bulumi

Munaffe wummula
Buli gye mpitira abantu bagambye baatamwa
Muzeeyi wummula
Munaffe wummula
Ffe twafunye empologoma envubuka ejja okutubbula
Muzeeyi wummula

Aba NEMA nze mwattu mwansobera
Byemutukola bitukaabya amaziga
Tusimba mulaba nga mutudde mu butebe
Ne mulinda bikule ate ne mujja mubitema
Lwaki temutema bino ebitannakula?
Mulinda tubakulize mulyoke mweyagale?
Muwoza twonoonye obutonde bw’ensi
We mugoba abalimi we mussa kalina z’ennyummba!
Abakwata envuba embi nammwe kye mbuuza
Wa gye mussa ebizibiti eyo gye tutannalaba
Ssirabangako nti biri ku Poliisi y’e Kibuli
Nti oba mwabigaba mu katale k’e Kasubi
Ndowooza mwe muggya omudidi gw’ensimbi
Muzimbe obubuto mugejje n’amatama
Ba MP aboku bizinga kye mbuuza
Kiki ekibaweesa omusaala gw’eggwanga?
Tokoze luguudo kuba oli mu nnyanja
Life jacket, abantu be bazeegulira
Tokoze lyato nti lisaabaza abanaku
Tolina ambulance abantu bafiira mu bulumi
Ku bizinga eddagala libeera lya bulumi
Temuzimba ttooyi bagenda mu nsiko abakulu
Mubakuba emiggo n’obalemesa ennyanja
Abantu mubalemesa okukola
Munaamalawo mutya obubbi mu ggwanga?
Ng’abalina emirimu mubalemesa okukola?
Essente ze bawa MP ku nnyanja
Lwaki tebaziwanga bavubi ne beeyagala?
Buli munnayuganda saba mu ddiini yo
Tufune omukulembeze tukooye ebintu by’abafuzi
Nze ŋenze koowoola lubaale eka
Yandituyamba okuwangula abafuzi
Nkowoola abalongo emisambwa n’emizimu
N’amayembe ga kuno gakulemberwe Lubowa
Bwemunaanunula eggwanga ne litweyagaza
Ndibazimbira Yeekaalu wakati w’ekibuga
Ndibasalira embuzi n’embuutu ne nzikuba
Ndibalanga mu nsi yonna abantu ne babeeyunira
Mukatoliki, omusiraamu, omulokole mbasabye
Eddoboozi ly’awamu okusabira eggwanga
Wadde mubonaabona mugume mwenna
Ebintu bino bwe birikyuka
Embeera ekyali ya bulumi
Mugume balinnyuka tulifuna amasanyu
Abatembeeyi abaagobwanga mu kibuga
Mulyetala, nga mpaawo abakuba ku mukono
Abasuubuzi mulifuna amasanyu
Emisolo gitooleddwaako nga mufuna ensimbi
Abali mu makomera muliba ba ddembe
Nga mutwalwa ng’abazira b’eggwanga
Omuntu wa wansi sukaali wamuvaako
Oliba mu kwesiima ng’anti omugula olukumi
Olaba Tumukunde aliira mu nkomyo!
Kooti ne nva ku bintu omunaku w’e Masaka

Dudu jangu tugende gwe omanyi gye nvudde, eeh
Ebintu bino bwe birikyuka
Tuliba abalangira
Tuliba abalangira nga biteredde, aah
Abange nga biteredde
Tuliba abalangira
Abange mbagambye mwenna, aah
Tuliba abalangira nga biteredde
Tuliba abalangira
Abatutigomya bwe balivaako, eeh
Balikomba endagala nze mbalabudde
Tuliba abalangira
Abange mugume mwenna, eeh
Ebintu bino bwe birikyuka
Tuliba abalangira
Ŋambye baana bange, ooh
Wadde musula enjala bwe birikyuka
Mulirya ne mukkuta

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *