Bw’oba nga gw’olabirako muyaaye
Era naawe ofuuka muyaaye
Bwe baba ng’abakulembeze bayaaye
N’abatuuze bayaaye
Yazaalibwa mu kabuga ak’e bunaayira
N’akula n’empisa nga yetowaza
Nga buli taatawe ky’amugamba amugondera
Nga yamugamba nti ye takola bya kikwangala
Nga yamugaana eby’okulwana
Nga bw’omukuba ettama, akukyuusiza ddala
N’ayawukana nnyo ku bavubuka abalala
Nga yamugaana abawala, enguuli n’enjaga
Teyamanya, nti oluusi omwana w’omuntu
Byakugaana ate abikola
Taatawe baamukwata n’akawala
Nga batunda enjaga
Kati tekyali na taata gw’assaamu kitiibwa
Yafuuka muyaaye
N’enjaaye kati aginywa
Ayogera luyaaye
Ne mu Kiyaaye gy’asula
Abamuyita omuyaaye
Nti eby’ekiyaaye by’akola
Naye abayita bayaaye
Kuba tebakola bye babuulira
Olunaku lumu ng’enjuba enatera okugwa
Yasanga ekkanisa nga yonna enekaaneka
Bambi teyakimanya nti yali ya kikwangala
Pasita yali muyaaye ng’anoonya z’amata
N’amuyigiriza okusiga n’okugaba
Nti amuwe ssente agende ayambe abadaagana
Bwe yafuna ssente n’aziwa pasita
Ayambe abanaku musomi yayiga
Musomesa yazimba kalina nga kyokka
Endiga ze zilya amaluma
Kati takyalina pasita gw’assaamu kitiibwa
Maamawe akaaba (akaaba)
Agamba mwana wange
Ebya taatawo biveeko (biveeko)
Okomewo gyendi eno
Bw’onokyuka (uh uh uh)
Ojja kufuuka taata omulungi
Ateesittaza baana (uh uh uh)
Bakuyigireko bingi nnyo
Ne Mukama bw’atyo (uh uh uh)
Agamba mwana wange
Ba pasita abayaaye bangi (uh uh uh)
Naye n’abatuufu bangi nnyo
Olinga eyasimba ebinyeebwa
Ne mumereramu ebiddoddo
Oyo pasita gwe wasanga
Yali kamyu kye yava akusiiwasiiwa
Wafuuka muyaaye
N’enjaaye kati oginywa
Oyogera luyaaye
Ne mu kiyaaye gy’osula
Abakuyita omuyaaye
Nti eby’ekiyaaye by’okola
Kituufu nabo bayaaye
Kuba tebakola bye babuulira
What is the best absolutely free blog/web or search engine directory on the web?
Wow! Wonderful statement! I adore the way in which represented Muyaaye Lyrics – Zanie Brown. Many of us offer writer has popular knowledge
in simply writing as well as writing ability.
Bad I’m not necessarily good at scribbling, specially
in learning posting. That’s whyNormally sequence papers right
from selection coming up with people .
In case there are has been related provide, It’s possible
to advis them gentlemen denckerwoodward15.bravesites.com.
These kinds of products construct really good evaluations regarding the common on the web writing blogs
Fantastic song, “muyaaye,” soul touching and inspiring song for this generation. long live za brown, your talented and gifted.glory be to lord.
This is so inspiring, this song realy has touchd me through n through, am in love with it..
thanks to Zanie Brown to get 4us this great message..
Nyc Lyrics Zani ! Big Up.
Nice Song From Zanie Thanx For Your Advice For The New Ugandan Youth Big To U Lady Let The Almighty Bless U
NICE LYRICS N ALL I CAN SAY IS BIGUP TO ZANIE BROWN.