Essanyu mu bulamu ly’eggandaalo lyo
Akaseera ako buli kimu kiba kirungi
Ng’owuliriza music emmere y’okudigida
Ebirala webitatuuka yo etuukawo
Music ly’essanyu
Music ewummuza ebirowoozo
Music eringa eddagala
Likusensera buli kanyomero k’omubiri
Omubiri olwo negweta
Wamma negubula asala
Olaba n’omwana omuto
Ayimbirwa akayimba atere yeebake
Tulo tulo kwata omwana
Bwotomukwate ng’oli mulogo

Tuva waka tuutwo mu ndongo (mu ndongo)
Radio nazo zituweereza (zituweereza)
Ne mu nnyimbe tuyimbirayo (tuyimbirayo)
Abalala banyenya mitwe (banyeenya mitwe)
Abandi bafuuwa mpa (bafuuwa mpa)
Abalala banyenya ku galiba enjole

Ogenda n’okeera mu matuluttulu
N’ozibya obudde ng’onoonya nsimbi
Bw’oddayo eka eyo osookera ku music
Ekuwummuze olwo okole ebirala

Afuna omwezi nga yagabanye
Oluzikwatako ati n’ayokerera
Adduka emisinde ng’anoonya music
Nkugambye anyenye ku galiba enjole

Tuva waka tuutwo mu ndongo (mu ndongo)
Radio nazo zituweereza (zituweereza)
Ne mu nnyimbe tuyimbirayo (tuyimbirayo)
Abalala banyenya mitwe (banyeenya mitwe)
Abandi bafuuwa mpa (bafuuwa mpa)
Abalala banyenya ku galiba enjole

Afrigo Band bakuba muziki gwabwe
Abalala banyenya ku galiba enjole
Radio Uganda bakuba muziki gwokka
Abalala banyenya ku galiba enjole
Capital Radio bakuba muziki gwabwe
Abalala banyenya ku galiba enjole
Radio Sanyu bakuba muziki gwokka
Abalala banyenya ku galiba enjole
Angenoir Disco bakuba muziki bambi
Abalala banyenya ku galiba enjole
Pearl Session bakuba muziki gwokka
Abalala banyenya ku galiba enjole

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *