Musaayi Gwange Lyrics – Paul Kafeero

Musaayi gwange tuli ku jjego
Ensi okutuzza gye tutaamanye
Nga n’emisanvu egitutangira
Gituli mu luggya netutagyetiba
Musaayi gwange tuli ku jjego
Ensi okutuzza gye tutaamanye
Nga n’emisanvu egitutangira
Gituli mu luggya netutagyetiba
Ebimbeyimbe ne bitusenkenya
Tutudde tuzze mu kulozoolera
Obuzibu bufuuke agazibu ddala
Bannange tujja okunenya abafu
Gubasinge nga tunyeenya ebica
Ffe abakyalina ku budde obutetenkanya
Ng’omukisa gukyatuli mu ngalo
Musaayi gwange nsaba twogere
Ab’enda emu ebituboolanya
Busongasonga obutono ddala
Tugifuule emisango gy’ekika
Baana battu twandyekutteko
Tusibuka mu nzikiriza na nnono
N’abaana baffe bye balisangawo
Nabo balibulibwa bye baliteekawo
Ebituufu ani alibibabuulira?
Tuteeseteese tulibagamba ki?
Bwe balitubuuza ebitukwatako
Kati tulina ababitunnyonnyola
Tubatunulako nga betuteeguya
Bakadde baffe abasigaddewo
Mubalaba nammwe abatono ddala
Nga nabo emyaka gibaweddeko
Bwe balituzaawako tulikwata wa?
Tusigale mu bulamu obw’ensobi
Mu bibuuzo nga tubuusabuusa
Batukoowoola twetuddeko
Twesigayo ani alitutuukako?

Musaayi gwange nsaba twongere
Nsaba twogere
Nsaba tweddemu
Twesigayo ani alitetenkanya?
Musaayi gwange nsaba twongere
Nsaba twogere
Nsaba tweddemu
Twesigayo ani alitetenkanya?

Omuntu bw’afa ssi kusaanawo
Ng’abasinga bwe batetenkanya
Balimbelimbe be baasookawo
Kugira okwezza ebitatuukanye
Tusigala tululuumirirwa obuvo
Ng’ebitatuuse by’ebituzuukusa
Mpewo kutawaŋŋanira mu b’ebika
Bitusuule ate ne ku kawansazi
Okwetanga ensobi eziriddawo
Kano ke kadde akasigaddeyo
Tekagwanamu bunafu bwa mitwe
Tugolokoke ensi teritukwatako
Okufa tekweruza ndege evuga
Nti oba kunajja kusamba omanye
Alwogerako ssi y’aluzuukusa
Bannange tujja okunenya abafu
Ekika kyaffe kiwerera ddala
Naye tumanyiganye abatono ddala
Mulyetabaganya mutya ababoolana?
Ng’abafa eri batufuddeko!
Tulyebuzaabuza tulituuka wa?
Ekika ebibuuzo bikyetuumako
Mpulira mubyanukulira mu ngero
Mmwe mugereese kiritutuukako

Musaayi gwange nsaba twongere
Nsaba twogere
Nsaba tweddemu
Twesigayo ani alitetenkanya?
Musaayi gwange nsaba twongere
Nsaba twogere
Nsaba tweddemu
Twesigayo ani alitetenkanya?

Wano bannyinaffe bagumba malya
Agataliiko ajulira ku kye buko
Gera ne ku baana be bazaalayo
Bannange abajjwa balitubuukira
Bintu gye bujja ebiritwawula
By’ebitugayaaza ebitono ddala
Ng’atajjumbidde atuggya emize
N’okuyitwako engeri z’ensobi
Sso bwe tutetenkanya ne tubiddamu
Tumanyiganye nga bwe bitukwatako
N’eyasobya alyenenyeza owuwe
Ng’abatabaganya bakyatula mu ngalo
Balitugeyengula balituuka wa?
Bwe balitubuuza ebitukwatako?
Tuzze ku myenge tugifuula ekika
Okumanyagana nga tutamiiruka
Gye tuva ate eyo ne tuneneŋŋana
Abooluganda ne tubalankana
Twesibiridde entanda entono
Tuliba tusembera ne bazingako
Abaana bammwe mulibatuuma ki?
Nga mmwe gye baababbula mwakyawayo?
Muli ku mannya mulondalonda
Mutuumatuuma vuyaga omusa
Ebintu bya muzeeyi mwabikwatamu
Sso yabibagaana ne mulalambala
Okwo kwe kwava n’oli omulala eyafa
Leero ogwo tulina musango ddala, oh oh

Kati waliwo abali e bunaayira
Emitala w’ensi eyo ewala ddala
Leero simanyi oba abo tulibaggyayo!
Ye bwetulituusa tulisooka wa?
Osuulawo era akabugo omanya
Nti we beebaka twategeerawo
Kiriba kiyinzise tulibaggyayo
Obutaluluumirira baliddawo
Ne bakadde baffe beeyawuddemu
Kulwaffe baagaana okussa ekimu
Ssenga ne ba taata obasiba awamu
Bwe kiba kisenge kisekebbuka
Biva eyo naffe ne bituboolanya
Byetutamanyiiko kale tufiira ki?
Bwe balibula ani alitubuulira?
Nze bino bigwana abikaliddemu
Balala baatukyayira ddala ddala
Ku lw’obuntu obw’ekigwi ky’eddalu
Mu ng’ebibanja bye basengamu
Era kati kikakali ogatta ennima
Abalala baamalirira ne basenguka
Tebaddangamu na kumanyikangako
Musaayi gwange nsaba twogere
Ddala kiki ennyo ekituboolanya?
Lulala Katumba asotta eggadi
Yagimpisaako kafuufu andabye
Musanga mu katale alamuza ndiga
Mbu alina eka ebimukiggyanya!
Kale Katumba oyo ddala omuto
Ebbujje eryakabanga amaka!
Endowooza ezo yaziggya wa?
Ebintu ebyo ani yabimutendese?
Oyo Sarah wa bizibu mbagamba
Bino bye tulina bitumalira ddala
Mujja kusomba ebiritwetiba
Musaayi gwange ekijja omanyi
Bannyinaffe okubuna amalya
Ow’e Bujwanga yalifiiramu
Nga ne gye yaziikwa mbuusabuusa
Nti ku ffe kuliko eyategeerayo!
By’ebinsuza nga ntakula omutwe
Ssi musango njagala ne twegeya
Ng’abakadde bano bakyaliwo
Bannange tujja okunenya abafu
Ebintu byabwe ne bibulankana
Amaanyi gaabwe gaabafiiraki?
Buli kaseera ne bagakaabira
Okukolerera ffe abeetuddeko
Tuzze ku byalo tugalika engalo
Bwe tuzitega amaleere g’obucu
Bye twewanyisa tuddiŋŋana
Byetuteyama birituvunaanisa
By’ebinsuza nga ntakula omutwe
Ssi musango njagala ne twegeya
Mpite olukiiko mbasaba
N’abeewala tubakoowooleyo
Bwe butazaawa nga twekutuddemu
Tetuliwasaŋŋana bwe tuzaalanwa
Bwe muliba mujja gye tuliteeseza
Temulekangayo abaana eba nsobi
Omwezi tulonze gwa Kasambula
Mu nnaku zaagwo ekkumi n’olumu
Tuteeseze eri gye batuwunzika
Tulime ne ku malaalo mujja mwesibye
Buli muntu ajjangayo n’ekimu
Nantongo otyabanga emmuli
Gwe Kitatta oyigganga ensolo
Nze ngya kuyiisa oguta gw’obucu

Tugende twogere
Tugende twegeye
Ebyakyama nga tubiddamu
Tulyebuzaabuza tulituuka wa?
Tugende twogere
Tugende twegeye
Ebyakyama nga tubiddamu
Eby’okuboolana bituyamba ki?
Tugende twogere
Tugende twegeye
Eyasobya alyenenyeza owuwe
Okusinga ate lwe tuneneŋŋana
Tugende twogere
Tugende twegeye
Eyasobya alyenenyeza owuwe
Okusinga ate lwe tuneneŋŋana

Submit Corrections