Munsendere Lyrics – Mathias Walukagga

O.B. yanguwa, nkubuulire
Waliwo ekinnuma ekimbuza otulo ewaka
Nze munno gw’olaba, Walukagga nkuze
Naye ewaka eyo sirina anfumbira
Nze naawe twasoma ppaka University
Olwafuna diiguli n’omukyala n’ofuna
Sirina ttabu, era tontaankana
Nti oba ndiko mu butonde awataawera
Abawala ba kuno, nze okubeepena
Bantamya obukuusa be bamu abasattira
Baalya Katongole n’empalaata n’ekula
Edduuka eddene olwakala nga badduka
Ekintu ekyo kyannuma, tebalina mpisa
Mpaawo nsonyi ate ne bamugeyengula!
Tukole bwetuti, amazima gaagano
Njagala mwannyoko ewammwe nfuuke omuko
Ssikyebaka, n’okulya ssirya
Ne bye nkola byonna bidobonkamu
Laba bwe nkwesiga, omuŋambire
Mwannyoko gwe nsiimye anfumbire
Munsendere, munsendere
Omuŋambire munne mufa okufa
Nnyamba, muko to be
Ntaasa, nkutume kiggwe

Ŋambira mwannyoko ajje anyambe
Ajje annyambe
Omukwano gwe gummenya ajje agunone
Ajje agunone
Nsendera mwannyoko ajje annyambe
Ajje annyambe
Omukwano gwe gummenya ajje agunone
Ajje agunone

Nze ssegwanyiza, buli gwe ndaba
Ky’ekiŋambisa nti ndimu n’olunkulu
Bwentyo bwe natondebwa, ssigwirana
Ne be nkuze nabo okuntegeera baalemwa
Ewange gye nsula ntuuka kkumi na bbiri
Disco ne firimu eby’amasanyu byalema
Omwenge bwegutyo, ssigukombako
Mpozzi awabeera omupiira we nsisinkanwa
Njagala aneesige, nga bwe namwesiga
Tukuze ondaba muŋŋumize mwannyoko
Ebintu bwebityo n’Omukama ansaasire
Ŋonderwe ekkubo erintuusa ku mwannyoko
Kaliba keetalo ku lunaku lw’embaga
Lwetuligattibwa nze n’omulungi mwannyoko
Alina empisa, omuntu ow’ekisa
Talina group z’egyo miswaswangule
Waliwo bbanka awo mu Ndeeba waakola
We ntereka akasente mwana wattu ke nfuna
Mumanyi nnyo nnyini
Era naye ammanyi
Obutamwegambira bya kikulu bye nkola
Munsendere, munsendere
Omuŋambire munne mufa okufa
Nnyamba, muko to be
Ntaasa, nkutume kiggwe

Ŋambira mwannyoko ajje anyambe
Ajje annyambe
Omukwano gwe gummenya ajje agunone
Ajje agunone
Nsendera mwannyoko ajje annyambe
Ajje annyambe
Omukwano gwe gummenya ajje agunone
Ajje agunone

Double Kick
Yaled

Mbuulira ky’olaba muko ki ky’ondowooleza?
Tukuze ondaba ne we nimbye ombuulire
Ssiri byomere ensonga ssoosa kkola
Kasita ebirungi bifunwa oyo anyiikira
Omubiri okumbula, n’emisuwa okwepika
Ssi musaayi mufu mwannyoko y’ansumbuwa
Yogera ne by’olaba kasita nkuze ondaba
Eky’okumulimba ng’oyamba nze nkyebaza
Nkuba akafaananyi ng’atudde wange
Bw’ati mu mulyango, anninze munnange
Embaga yaggwa dda anjagala nnyo
Tuli na bafumbo, anterekera ebyange
Kyokka mwannyoko, agenda kunzita
Nnoonyezza ne kye mmukolera kyambula
Nsaba anfunireyo akadde nga yadde bwe kati
Nnyumyemu naye ssiragidde naye nsabye
Jangu, jangu, jangu nkutume tyo tyo
Nnyamba, muko to be
Ntaasa, nkutume kiggwe

Ŋambira mwannyoko ajje anyambe
Ajje annyambe
Omukwano gwe gummenya ajje agunone
Ajje agunone
Nsendera mwannyoko ajje annyambe
Ajje annyambe
Omukwano gwe gummenya ajje agunone
Ajje agunone

Ffuba nnyo omuŋambire
Nti okulwa owasa kuno
Ssi ndiga kuntomera mutuufu ye yali yambula
Bawala ba kuno, sibala njolo
Abaneegwanyiza mbu bajje banfumbirwe
Nze be ndaba kw’ogatta n’abaleetere
Ne babampaanira naye omutima gwatamwa
Eby’enkula ye obubi obulungi tebinkwatako
Namwegombako mpisa ekindi bukakkamu
Ennyambala eraga eyazaalibwa mu bagunjufu
Ssimusangangako nze mu nkunamyo mwannyoko
Nkuba akafaananyi ng’atudde wange
Bw’ati mu mulyango, anninze munnange
Embaga yaggwa dda anjagala nnyo
Tuli na bafumbo, anterekera ebyange
Nkuba akafaananyi ng’atudde wange
Bw’ati mu mulyango, anninze munnange
Embaga yaggwa dda anjagala nnyo
Tuli na bafumbo, anterekera ebyange

Submit Corrections