Tewali mu nsi muno mulongoofu
Sso nga tewaliba mu ggulu
Wabula abantu be yalongoosa
N’omusaayi, ogwa Yesu yekka
Munaabe munaabe
Mu musaayi mu musaayi
Ogunaaza mmwe buli kibi
Mwe temulitukula
Awatali Yesu munaabe
Mu musaayi gwa Yesu
Omusaayi gwa Yesu gubanaaza nnyo
Abagwagwa abomu myoyo
Kale temulwa naye muyanguwe
Okunaaza emyoyo gyammwe
Munaabe munaabe
Mu musaayi mu musaayi
Ogunaaza mmwe buli kibi
Mwe temulitukula
Awatali Yesu munaabe
Mu musaayi gwa Yesu
Bw’alikomawo nate Omulokozi
N’amaanyi n’ekitiibwa kingi
Abatanda nabo baliyimbira
Mu mbaga, y’omugole batya
Munaabe munaabe
Mu musaayi mu musaayi
Ogunaaza mmwe buli kibi
Mwe temulitukula
Awatali Yesu munaabe
Mu musaayi gwa Yesu x 2
Balitya, okulabika mu maaso ge
Okutya kuliba kwereere
Naye leero muyinza okulokoka
Mu busungu bwe obulijja
Munaabe munaabe
Mu musaayi mu musaayi
Ogunaaza mmwe buli kibi
Mwe temulitukula
Awatali Yesu munaabe
Mu musaayi gwa Yesu x 3
Thank you! Thank you! Thank you!
Sing along to the lyrics was awesome ??️
Thank you so much for Lyrics, I was desperately looking for the words but I found it. God indeed bless uou