Mukama Nyongera Amaanyi Lyrics – Mowzey Radio

Katonda weebale n’olwaleero lukedde
Abantu ba Katonda fenna otusitudde
Abalungi n’ababi bonna obagabudde
Obulamu n’ensi byonna obituwadde
Katonda neesiga gwe
Oli maaso ndi mawaani
Neekutte ku gwe yeggwe alina plan
Onkuumire mu ngalo zo
Wabweru teekayo sseŋeenge

Mukama nyongera nyongera amaanyi
Mukama abangigganya obamale amaanyi
Mukama nyongera nyongera amaanyi
Bonna abangigganya obamale amaanyi
Nyongera amaanyi nyongera
Nyongera amaanyi
Nyongera amaanyi nyongera
Nyongera amaanyi

Katonda ow’ekisa
Gwe atonnyesa enkuba
Gwe ameza emmere
Katonda gwe ayasa enjuba
Gwe amanyi abalabe bange kyebandowooleza
Buli gwe ndaga ekisa
Ate enkeera andaga ettima
Kati tebakkuta
Ne bw’obawa embuto bawewa
Amagulu gabasibe bagaane okutambula
Emimwa gibasibe gigaane okwatula

Omulwanyi wange Namige
Mpeereza obuyambi eno bannumbye
Mpa abalwanyi ewange banzinze eno
Mpeereza abalwanyi bannyambe
Sisobola bw’omu wotali gwe
Omanyi okukuuma
Omanyi okuwangula

Submit Corrections