Mukama Katonda ggw’ofuga
Ggw’olaba, ggw’ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw’ofuga, ggw’olaba
Mukama Katonda ggw’ofuga, aah
Ggw’olaba, ggw’ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw’ofuga, ggw’olaba, ooh
Mukama Katonda wange
Omusumba atambuza obulamu bwange
Era akakkanya empologoma ng’ekaayidde
Engabi ku ttale, eh
Gw’amanyi amagenda gange
Omusaale mmajja gange
Na bino nabikukwasa nsaba taata onnyambe
Gw’aleeta amaanyi
Abalabe bange ne bavunnama wendi
Mpa amaanyi, nnwanise abakaafi
Bonna amaaso bankanulidde, eeh
N’abamu nga bantaagudde
Kyova olaba bino mbikuwadde
Ggw’olaba, ggw’ofuga
Mukama Katonda ggw’ofuga (oooh)
Ggw’olaba, ggw’ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw’ofuga, ggw’olaba
Mukama Katonda ggw’ofuga aah
Ggw’olaba, ggw’ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw’ofuga, ggw’olaba
Mu by’ensi sigitya Mukama
Ne bwe mba sifunye mapipa
Ntambulira ku ggwe wekka, Mukama Katonda
Mu mutima mundimu maziga
Olumu mpaala tondeka kubula aah ah
Ndi awo simanyi gye ndaga
Nzibula amaaso oh
Bantu bannaffe beeyisa bubi dunia kali
Gw’owoze akuwenja na biso or gun
Ŋŋenda mpalabana n’ensi egaanyi, oh oh eh
Mukama taata (taata)
Omukono leeta (leeta)
Omuyaga bwe gujja (bwe gujja)
Mpone okuyuuga (mpone okuyuuga
Nsabye nkusumbuwe
Buli kimu ekyange onkuumire, oooh ooh
Mukama Katonda ggw’ofuga
Ggw’olaba, ggw’ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw’ofuga, ggw’olaba
Mukama Katonda ggw’ofuga aah
Ggw’olaba, ggw’ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw’ofuga, ggw’olaba
Sound Cover Records
Newaddeyo mu mikono gyo Mukama Katonda
Gw’omanyi musumba wange
Mundeke nze binnemeredde
Buli bulabe buntambadde
Ne be nayamba banfuukidde
Nze nfuuse emboozi zaabwe
Ddala era nga bwe wagamba
Asaba aweebwa neewombeese
Nsaba busabi Mukama tonta ŋŋaane okugwa
Gw’olimu emirembe gyange
Y’ani tewali mulala amanyi ebyange
Ndituula ku mugongo gwa ggoonya taata ng’oli nange
Engo zirifuuka mikwano gyange
Amagunju galikuuma obukoko bwange
Abalabe balinviira mu matwale gange
Ng’oli nange, Mukama
Mukama, bwoba nange
Ebyange byonna aaah
Mukama Katonda ggw’ofuga
Ggw’olaba, ggw’ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw’ofuga, ggw’olaba
Mukama Katonda ggw’ofuga aah
Ggw’olaba, ggw’ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw’ofuga, ggw’olaba, ooh
Mukama Katonda ggw’ofuga
Ggw’olaba, ggw’ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw’ofuga, ggw’olaba
Mukama Katonda ggw’ofuga aah
Ggw’olaba, ggw’ofuga
Buli kimu ekyange kati yeggwe alaba
Ggw’ofuga, ggw’olaba, ooh
Ggw’olaba, ggw’ofuga
Ggw’ofuga, ggw’olaba