Ataalaba ku nnyina mu buto osanga agamba
Nti taata baamuseera maama
Kye neekakasa abaliddawo era nze omu
Mu balisomwako mu bitabo ebitukuvu
Nanoonyezza agazibu agagumbye ewaffe
Ageekiise mu baana ba wano
Mazima ennyumba ya kitange ekaabya
N’omulalu ajjawo n’atusekerera
Ne gye beeraguliza ne ngya mpitayo nga mbuuza
Naye ffe lwaki tuli bwetuti?
Engulo y’okwo y’enyinyonnyola nti kitammwe
Omukyala gwe yaleeta afuuse lumbugu
Ddala omufumbi gwe yakwasa eddya lino
Okuuma abaana afuuse lunnabe
Yajja n’eddagala li muzunza gambye
Kitammwe twamulabula naatatuddamu
Yatubina n’agattako era okimba
N’abalaze n’abakongyeranga ebivve
Mpaawo mwana ka alina mirembe gye
Kyenva nsaba muzeeyi kitaffe
Ntino wekkaanye abantu b’ofuna
Tobeera eyo n’ojja okirowooza ntino
Twakukyawa bwe butakulambula
Entegeka za muka kitaffe nkyamu
Zirimu enkwe, eddogo ko n’omulugube
Ssabasumba bw’alangirira nti Idd ya nkya
Awo w’omanyira ebyayise ekiro
Kale maama muka kitaffe
Oba gwe wajja n’eddogo eritutabaaza
Wegazaanyize mu maka ga kitaffe
Tusazeewo tukukwase Mungu
Kale maama muka kitaffe
Oba gwe wajja n’eddogo eryatusiraanya
Wegazaanyize mu maka ga kitaffe
Tusazeewo tukukwase Mungu
Smart Studio
Ffe eka kyali mu butonde bwe tuneneŋana
Aba taata waffe n’atabaganya
Era emirembe egitutemba nfaafa
Kitaffe bwaba ng’ali musaayi gwe
Naye omukuumi gwe waleeta akisse
Buli akufiirako n’ajja amubuukira
Gwe ate okutugoba ku kiggya ewaffe!
Omukuumi ono afuuse mukoko
Bandiba nga bamugamba okubega
Ng’abeffitina baamusindika
Ndaba pulaani y’omukyala nnywevu
Kwe tugoba afuneko we yegazaanyiza
Baganda bange engeri gye bafaamu etiisa
Tuwulira baggwa n’okuziika laazima
Sessimba yaziikibwa eyo Buluuli
Ekiggya kyabbibwa omukuumi wa wano
Abandi bali Luzira mu gyera
Mukuumi y’omu mbu ku babapangira
Akatamiivu k’e Kateera ewaffe
Olumu mbeera ntutte kivvulu
Abantu baali ba muswaba abajja
Era nayimbanga ndi mu kwebowa
Kaali katudde mu kasonda ng’eri
Kasazeeko eno kawuuta walagi
Kye kaava kavaamu awo omwasi
Zijje zindye omutamiivu wa kuno, he!
Omukuumi kyatekoze awo ewammwee
Yabakwatamu n’ajja abaseetula
Ebigambo by’omubuuli ggambo bbi
Abamanyi Oluganda guba mwoyo gwo
Kale maama muka kitaffe
Oba gwe wajja n’eddogo eritutabaaza
Wegazaanyize mu maka ga kitaffe
Tusazeewo tukukwase Mungu
Kale maama muka kitaffe
Oba gwe wajja n’eddogo eryatusiraanya
Wegazaanyize mu maka ga kitaffe
Tusazeewo tukukwase Mungu
Ono omukuumi gwe mbagamba yasukka
Yava mu kwewanika ne yeegulumiza
Tabeera nga yakwata na mu bibbo nfudde
Lubaale n’abalongo n’abasumbuwa
Gwe ate onowakana otya nga Sseruwooza
Ne Bakulumpagi baafiira London
Emirambo ne gitulema era endeeta
Olw’obumaali n’empi n’okutwekubya
Bannyinaffe bagwa n’eddalu mu bufumbo bwabwe
Awangadde mwezi ne busattuka
Amawemukirano agagudde ewaffe
Abaana batandise kwewasa
Kasendwa eyali akutteyo ng’ayimba
Yagenda mu buvubi e Kalangala
Ebigambo bino mbyogeza kitange mbuuki
Ebiggya n’amalaalo g’abo ba jajja
Bitundinddwa ekimpukumpuku
Emmwanyi atunda awa ba kika kye beevuga
Ffe abazaalwa wano ne tweyayamula
Twekuŋaanya ne tujja tulimanga ku biggya
Bituukuumye olw’omukuumi wo
Abagenzi balulumira ffe abaana
Alina mbu n’endagaano zaakola
Kale maama muka kitaffe
Oba gwe wajja n’eddogo eritutabaaza
Wegazaanyize mu maka ga kitaffe
Tusazeewo tukukwase Mungu
Ono omukuumi okuva lwe yakwata mu bibbo
Buli mwana ewaka yeesudde muumuli
Nebwetwekuŋaanya tutya ne tusalawo nti kuteesa
Ffe ffennyini tuba mu kwebega
Eby’obufuzi tubibeeramu nnyo okamala
N’anaawangula afuba atukozese
Twesimbawo era ne tuteekawo nnyo ovuganya
Tuwunzika tuwagidde ba muli
Enkwe eziri mu nnyumba ya kitaffe nedda
Jjegejjege n’ati ne twekalabula
Kuva edda n’edda waali wa kitiibwa ewaffe
Waazigamye jjuuzi olw’omufumbi wo
Nsubuga Paul munnabusiro gw’eyatutuuza luli
Tuddemu otikize ekya luli
Honourable Seggona mundabire nnyo
Nanti y’awoza emisango gya wano
Ebyomunju ensonga kwe navudde obyasa
Anti eddagala erikaawa n’okuvumula
Wangaala omwana wa Muteesa bbaffe
Ndimugaaya aligeza ajje akubuukire