Omusana gumwokya enkuba n’ekuba oyo
N’ayiiyayiyako nga buteerere
Mazima nkole ntya faranga nfune?
E Bule n’e Bweya yonna ntuuse, oh yeah
Mpigi, Luweero, Mbarara, Masaka
Ne mbuuzabuuza kiri kitya ewaabwe?
Nti wano mu Kampala nabo batenda
Mbeera ya leero teringa ey’edda
Kati we bituuse
Tusaanye kuyambagana
Tusaanye kujunaŋana ooh

Mubayambe mubajune
Abali mu bwetaavu
Mwesibe bbiri, mujune
Mubayambe mubajune
Abali mu bwetaavu
Mwesibe bbiri, mujune mmwe

Uuuuh uuh uh
Uuuh yeah
Kati tukole ki, tusale galiwa?
Okufaananako abo abaatusookawo
Mu nsi eno
Abantu b’edda baali bassakimu
Tewali kusosola
Abeera alina ayambe oyo atalina
Naawe gwe asobola ng’oyamba oyo
Atasobola kwejuna oh
Leka tunyumye ku bukyayi
N’okulumagananga
Twogere ne ku mikwano
Egikulaakulanya aah eh
Tulambule ku bugagga bwe tulina
Akaco kano
Tusekemu ku nseko
Tuzinemu ku mazungu wamma
Bambi!

Mubayambe mubajune
Abali mu bwetaavu
Mwesibe bbiri, mujune
Mubayambe mubajune
Abali mu bwetaavu
Mwesibe bbiri, mujune mmwe

Mubayambe mubajune
Abali mu bwetaavu
Mwesibe bbiri, mujune
Mubayambe mubajune
Abali mu bwetaavu
Mwesibe bbiri, mujune mmwe

Ffe ka tukole nnyo tuyambe abo
Mujune mmwe
Y’emu ku nkola ezinaatuyambanga
Mujune mmwe
Mungu bw’akuwa yiga okuyambanga
Mujune mmwe
Ooh mwesibe bbiri
Mujune mmwe
Mubayambe abeetaaga
Mujune mmwe
Oh mwesibe bbiri
Mujune mmwe
Ooh mwesibe bbiri
Mujune mmwe

Submit Corrections

One thought on “Mujune Lyrics – Ronnie Kavuma”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *