Abako mugyebale emirimu
Naffe eno tukakkalabya
Anti egyaffe tubuna nguudo
Bwatyo agigaba y’ategeka
Ne tuleppuka obudde okuziba
Ne gituzza muno gituzza muli
Kale tuwumpuguma
Kyokka Mukama osobola!
Nze nginsuza mu bisebbuusi
Mu bisaakate nga mizindaalo
Mu nsuku ompita omugogo
Leero tukirako abasezi
Naye nze sijja kwevuma ndongo
Leka nkole ogwo y’alimanya
Kuba ndabye nkumu abakuze
Ne bibakuba ddolera
Balala bwe baamala okulemwa
Osanga bageya ategana
N’okuvvoola ne bavvoola
Nga bwe batukiza ebibalo
Ku mbalaza n’alegesa
Mwanattu luliko nnyini lwo
Bantu bakooye okubasitaamirira
Mugenda muwunya engatto
Ne mbalaza ziyooyootwa
Aah tukooye okututuulirira
Okutuzimbirira, mutukaluubirira
Mundeke mbalangire muleke
Abantu abo batuyiikiriza
Nze era bantama dda dda
Abeebafu okutulooterako
Mbu lujuuju yagula emmotoka
Ennene okukira omuzigo
Nti gupangise oggalewo
Kiki bakukuba enfuufu?
Osanga n’abaasigala emabega
Baloota bakunukkiriza
Mbu nze ne nfuna oyo z’apakasa
Singa nina city namba
Bannange akasanke kaakulema
Okumaanya okukamala ebyoya
Ng’ate ojja weekaniikirira
Nti aah muleete n’eŋaaŋa
Ah ho ho!!!
Eby’enfuna ssibyangu era
Buli gw’olaba abirina
Nga byayita mu makubo ga ddembe
Beebo be tuyita abazira
Okukola kutawaanya ensi
Abalala baasoma emirimu
Naye ng’okufuna waagujja
Ssoole zibaggwa ku ngatto
Ebisinziiro bikunamye abantu
Toguzannyisa agulina
Ate ssi buli akola nti kwekugabana
Kale nno mwegendereze ebintu
Nze singa nali nze asinga
Okumbobbya omutwe eyo gye mpitira
Batubala kuba ba kitalo
Tukira be baatuma oluwalo
Tuyita mukungiriza
Mbu abo bannaffe baayitawo
Sso nno ebimu twekana obukanyi
Mmwe ne muliyita eddembe
Kino kiri ku buli ategana
Teri aziweesa mu jinja
Fenna biba bya ntuuyo
Naye kinnuma okutusengekamu
Nga gwe bw’oguza Ken ettooke
Nze bwe namuza n’okyusa
N’oduumuula empiiya
Mbu ezaffe ziba za migano, yiii!!!
Bamanyi nno n’okutuswaza ate
Ow’e Luweero yanzigalira emmanju
Mbu “wano ssebo okukuba endongo
Ezange omala kuzisuula wali!”
Kko nze nno leero nga tewali
Naye bwe naamala okukola naawa
Twegayiridde omuntu
Yakomba kw’ebaza eriibwa
Mbu “naye nammwe mumissinga
Singa nali mmwe kye nsooka
Wa kikaali kumulowoozaako”, he
Zino zijja kutusaza obwambe
Kwekugamba tulabye ebintu
N’osigala binyeenyezanga mutwe
Gwe ky’olaba nga ky’oyita ekitono
Kikyukanya endali omulala!
Empalaata bwemera omuntu
Tokuyita okukuba ekiyobyo
Nze mpulira mubuyita buyinja
Mbu n’okugulwa busuubulibwa
Kale mwawubwa bayaaye mmwe
Omuntu akuze okumuzannyirako!
Kuba obwo bwe bubonero obulaga
Mukulu ki kwe twebuuza
Ne nnyoko bw’ameranga envi
Ofukamiranga ku viivi
N’owongerera gw’osinza
Abaffe baabula dda dda
Twalwanyisa bulwanya nsi
Ffe kennyini kwebuulirira
Ne Mukama kutukwatirako
Ku bwetowaaze n’okugya mu bantu
Era bwe twayiga emirimu
Twakulembeza kugumiikiriza
Obunyiikivu kko n’obugumu
N’obukakkamu awali ebinyiga
Ataakulaba ng’agamba
Nze mbasanga banyumiza abalala
Mbu abo baggukira mu magoba
Bannange owulira omuntu!
Ffe lino lyatufuukira ekkatala
Okutubanja byemutaatuwola
Ne k’okoze wa gy’ozaalwa
Katuuza enkiiko emiruka!
Wano mwatulangira obunafu
Mwatulumiriza obufuta
Bwe tuli ab’amagezi amatono
Bannange ku ntandikwa olaba emyoyo
Otetenkanya bakongoola
Baŋoola bakuba embirigo
Ate bw’osambula ne bakungiriza
Bwe tuttiza ne beesomba
Nga batandika kukujajatta
N’amannya bagakuggyeko
Bakutuumye ag’olusuutirizo
Ng’olwo gwe muzeeyi w’abenvi
Obukodyo bw’okukana emitemwa
Mpenda z’abo kuleekaana
Egyo emizira egy’ekiralu
Kkerere na njoogaano
Bannange mwegendereze emitemwa
Era temwesigamanga enduulu
Ssi z’ezaaniriza abagenyi
Batuwaana kututuuma mize
Zisudde bangi awazibu (ooh)
Enduulu
Teziwaana zituuma mize
Zimala zigiroopa era
Zisudde bangi awazibu (ooh)
Enduulu
Teziwaana zituuma mize
Zimala zigiroopa era
Zisudde bangi awazibu
Enduulu
Teziwaana zituuma mize
Zimala zigiroopa era
Abalala babbula endowooza endyo
Ya minyago gigaggawaza
Entuuyo zaffe kye mwazikoze
Zijja okubakaabirira
Nze kati nyinyuka nyeenya mutwe
Era seebaka mirembe waka
Mmwe bannaffe kwe tuzibaawuliza
Okunteebeza bye sirina
Ssi buli ayaniriza abagenyi
Nti guba musaayi gwa luggya
Nga bano ba mbaleese b’owulira
Abeesiba ku bwa nnyinimu
Owa nze oyo ke mutuukirira
Ensawo bwe muba z’ananywa
Ne z’anaalya
Muwendo ki oyo gw’agaana?
Kwekugamba n’olaba akakolwa
Nga kazannyira mu musiri
Ogwateganya ba nnyini gwo
Nnyini kajagalaza obugulu
Byonna oleka n’onyeenya mutwe
Gwe ate bwoba oleze ka baby ko
Bwe kakwonoonera otuga katuge?
Mbadde oyonja n’ozza n’okalera
Nkugambye n’olaba ejjoogo
Leero nze bandaba obutono
N’empongabyoya ejerega
Bo okugejja bagiyita diiguli!
Ffe bino bye tubayiiyiriza
Tetwabivumbuza ddagala
Nga bwe batugereesaako
Olw’ebitundu mw’osibuka
Njagala omuntu ajje ayogere
Eyali kampeyini manager
Nze mu kutandika endongo
Kye namma abampa obululu
Kuba nze bwe nali njiga endongo
Eyaginsomesa yakimpa buwa
Teyantuma yadde akantu
Ng’abataaliyo bwe mubimmanja
Ate saayiga ya kutunda
Yalinga ennyumira bunyumizi
Bwe yasukka okuwoomera awulira
Kwe kumansira bwiino ebitabo
Lupiiya naye kwe kujja
Kko nze ate mu nsi tunoonya ki?
Ng’ebirala nteeka wali
Kwekunfuukira omulimu
Bannange Abaganda baalugera
Nange ekiwoomereze kyampitako
Ne kisukka ku wekyandikomye
Ye nkenku kati gye nsengejja
Ebizibu be mbikwatirako
Ne neetala okuyamba ennyo
Kati bw’owulira bye banziramu!
Ensi eno!!
Bannange tulaba ebintu
N’osigala binyeenyezanga mutwe
Olaba n’abatubeera ku nsegere
Wewuunya ebibava
Otunuulira ensi gy’ekuraza
N’oddamu n’onyeenya mutwe
Olaba ne bebwetugatta obuliri
Baba na bye batunoonyaako
Be balyake n’abananfuusi
Ba kirumirampuyi bbiri ooh oh
Enkwezenge, ba nattabula
Mu byange mwe muwowoggannira
Mbu nze bakazi be bazimmalako
Nti olwo mmwe abaami ze muggunda
Luddawa awo we nfunira?
Wamma sazze kuyomba
Nzizeeyo kufumba ndeete
Gwe ndabira gw’okiza ekibalo
Ku zize ze yepakaasiriza!