Mu nnaku za Kalema
Katonda atuyita
Nti mujje musonyiyibwe
Ebibi byammwe biggwe
Leero tubonerere
Tuwone omuliro
Katonda atusaasire
Atuwe ekisonyiwo
Mujje mwenna mwenenye
Ebibi byammwe biggwe
Bangi bafa bulijjo
Nga bali mu ntubiro
Nebatasonyiyibwa
Nga bukomye obw’ekisa
Ogamba gwe omukaba
Nti ndibonerera edda
Walumbe atalaga
Ajja kibwatukira