Mu Nkere Lyrics – Spark Sebabi

Bala bala bala ba
Spark Sebabi yo
Bala bala bala
Bala bala bala ba, yeah eeh

Tubaayo mu Nkere
Twesulira eyo mu Nkere
Tubaayo mu Nkere
Twesulira eyo mu Nkere
Bala bala bala
Bala bala bala ba

Abantu bantumye mbayimbire akayimba
Kano era njagala mukawulire
Ndi musajja mukulu
Kale bwe mba nnyimba saagala anyumya
Era nsula eri mu Nkere okumpi n’omwala
Ku nnyumba za Kaboggoza
Naye okutuuka we nsula
Ssebo oba nnyabo olina okugula gumboots
Oba waakiri obuveera
Busonseke engatto
N’empale ozifundikire mu sitokisi
Omanyi abaana b’emizigo kwe nsula
Basala ebyayi ne babisimbya line
Wali empitambi w’ekoma
We tukima amazzi tu tap ya Sserwaniko
Olwo e busukka kkubo
Wewali akatale kaffe kano ka toninnyira
Mwetugula obuwoowoolo n’emmamba
Ne chapatti ez’amagi ssebo
Wano e bukiika kkono
Wewali entuumu ya kasasiro
Ensowera eziva e Gulu, Kabale ne Masaka
Zonna we zisisinkana
Yeah eeh

Mmwe temubimanyi bino
Temubimanyi bino
Muwulira biwulire
Muwulira biwulire
Twesulira eyo mu Nkere
Twesulira eyo mu Nkere
Naye tuli basanyufu
Naye tuli basanyufu
Wabula ekitulabya ennaku
Ekitulabya ennaku
Nnyabo ebiseera by’enkuba aah
Amazzi gatugomosa ne tusula nga tuwuga, yeah eh
Gavumenti yambako

Spark Sebabi yo
Yeah eeh
Yeah eeh eh

Nali mu tulo nga neebase ekiro
Omwana wange Kikopokyamulaalo
Ye yanzigya mu tulo
Ng’akaaba, ŋenda okuzuukuka
Ng’amazzi gamusitudde n’omufaliso gwe
Muyoddewo musudde ku mabega
Oh nnyabo nga gandi mu kiwato
Ekitanda olwakivaako
Ne gakisitula, ne kitengejja temuseka bya nnaku
Nziguddewo ng’oluggya gaaluwambye
Kko nze kansalinkirize emmanju, n’omwana wange
Nagwa mu kazambi
Nga waliwo azibukudde kaabuyonjo efukumula, ooh
Asiika obulamu tamanya kazambi
Nayongra kuwuga
Ne mpalampa ku shade ya Nabweteme
Omwana ku bibegaabega
Ne zikookolima nga tuli awo twemagaza
Olwadda mu nnyumba nadda mu kuyoola
Naye ng’ebintu byange bingi gaabitutte
Nkebera akabokisi, mwe ntereka ensimbi
Nako nga gaakatutte ne nnyolwa
Maziga agajjululujjulu ndowooza bingi
Landlord, ssente z’enju, ez’okulya, transport n’ebiralalala
Aah aah aah ah
Ntumira abantu bwe tufaananya ennaku
Ab’e Nateete ne Kaleerwe, Bwaise
Ab’e Kimombasa, Ndeeba ne Zzana
Bwe tubonaabona mu biseera bya museenene, ooh

Mmwe temubimanyi bino
Temubimanyi bino
Muwulira biwulire
Muwulira biwulire
Twesulira eyo mu Nkere
Twesulira eyo mu Nkere
Naye tuli basanyufu
Naye tuli basanyufu
Wabula ekitulabya ennaku
Ekitulabya ennaku
Nnyabo ebiseera by’enkuba aah
Amazzi gatugomosa ne tusula nga tuwuga, yeah eh
Gavumenti yambako

Bagamba nti amazzi bwe bulamu
Nga tosula Bwaise
Nga tosula Bwaise
Nga tosula Bwaise

Obama
Obama Studios

Mpulira ennaku buli lwe ndaba mwasanjala
Ze mutonaatona mu kukyala kw’abagwira
N’enkulungo ne muziyonja ne ziyakaayaka
Zonna ne ziba nga buno buti bwa Sekukkulu
Emyala gitukuluggusa kutusuula mu Nalubaale
Mmwe muvuga zi Hummer, ki temutuyamba?
Twandiyagadde naffe okusulako e Muyenga
Naye emiwendo gy’amayumba kaweereege
Emirimu egireeta ku nsimbi gya kirabbayi
N’egimu gyajjamu okusosola mu mawanga
Bwe twadda ku nguudo tusuubula bwe tuwoggana
Nakwo ne mutugoba mbu tubalemesa laba ennaku
Tusiiba twezinze ku mbalama z’amayumba
Bwe buwungeera, ne twekubaagiriza ewa Nalweyiso
Tetubegomba, mubeere wammwe
Naye nze kye nsaba be kikwatako mutuyambe
Tuli bantu naffe, abatuuze ba Uganda
Era tuwa n’emisolo mutuddize ku buyambi
Mutuzimbire emyala
Gitambuze amazzi ne kazambi akulukuta
Tunaabeebaza, yeah eeeh eh eeh

Mmwe temubimanyi bino
Temubimanyi bino
Muwulira biwulire
Muwulira biwulire
Twesulira eyo mu Nkere
Twesulira eyo mu Nkere
Naye tuli basanyufu
Naye tuli basanyufu
Wabula ekitulabya ennaku
Ekitulabya ennaku
Nnyabo ebiseera by’enkuba aah
Amazzi gatugomosa ne tusula nga tuwuga, yeah eh
Gavumenti yambako

Spark Sebabi yo
Bala bala bala ba

Submit Corrections