Mponya Endagaano Lyrics – Judith Babirye

Mponya endagaano ze saamanya
Mponya endagaano munnange
Mponya endagaano ze saamanya
Omalewo obusibe mu bulamu bwange

Ooh mponya endagaano ze saamanya
Sumulula amagenda gange
Mponya endagaano ze saamanya
Omalewo obusibe mu bulamu bwange

Taata wange mponya endagaano z’abakadde bange
Yamba amagenda gange
Mponya endagaano ze saamanya
(Mponya endagaano munnange)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange

Eh mponya endagaano z’okusamira
Taasa amagenda gange
Mponya endagaano ze saamanya
Omalewo obusibe mu bulamu bwange

Taata wange mponya endagaano eza balongo
Hmmm, nnyamba
Mponya endagaano ze saamanya
(Mponya endagaano)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange

Yesu wange mponya endagaano ez’ebigambo
Yamba amagenda gange
Mponya endagaano ze saamanya
(Mponya endagaano munnange)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange

Taata mponya endagaano, mponya endagaano
Mponya endagaano zintwala
Mponya endagaano ze saamanya
(Mponya Mukama, nnyamba)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange

Mponya endagaano ez’omusaayi
Mponya Mukama ssebo
Mponya endagaano ze saamanya
(Mponya endagaano)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange

Waliyo endagaano ze baakola (taata)
Saaliyo, nnyamba
Mponya endagaano ze saamanya
(Mponya endagaano Yesu)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange

Yisaaya 28:18
Wagamba olisazaamu endagaano (ooh)
Mponya endagaano ze saamanya (ey’okufa)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange
(Wagamba teriyimirira)

Taata mponya endagaano z’okufa amangu
Endagaano z’obuyinike
Mponya endagaano ze saamanya
(Mponya endagaano munnange)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange

Taata mponya endagaano z’obutafumbirwa
Mponya endagaano za polygamy
Mponya endagaano ze saamanya
(Mponya endagaano munnange)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange (saamanya)

Taata mponya endagaano ze nakola
Bwe nali ndoota, ne ndya emmere mponya
Mponya endagaano ze saamanya
(Mponya endagaano, hmmm)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange

Yesu wange mponya endagaano ze nakola
Mponya endagaano ze nakola
Mponya endagaano ze saamanya (Mukama)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange (saamanya)

Waliwo endagaano ze baakola
Nga ndi baby, ndi muto neebase mponya
Mponya endagaano ze saamanya
(Kati zoogera, zinjigganya)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange

Mukama wange mponya endagaano ze baakola
Bwe baasaddaaka ebisolo taata, mponya ssebo
Mponya endagaano ze saamanya (saaliyo)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange (saaliyo)

Eeh waliwo endagaano ze baakola
Ez’oluuyi lwa ba maama bange
Mponya endagaano ze saamanya
Omalewo obusibe mu bulamu bwange
(Mu ba taata bange)

Mponya endagaano ze baakola (mponya)
Ba ssenga, ne ba kojja (byonna)
Mponya endagaano ze saamanya
(Mponya endagaano)
Omalewo obusibe mu bulamu bwange
(Mponya endagaano)

Nze bwe nfuba ennyo, zoogera (ze saamanya)
Mponya endagaano (ze saamanya)
Taata mponya endagaano ezo (ze saamanya)
Yesu mponya endagaano (ze saamanya)
Endagaano z’omusaayi (ze saamanya)
Ez’ebigambo (ze saamanya)
Ez’obutasaba ssebo (ze saamanya)
Ez’okugeya (ze saamanya)
Taata ez’okulimba (ze saamanya)
Emmere y’abafu (ze saamanya)
Emmere yo ku lumbe (ze saamanya)
Endagaano za polygamy (ze saamanya)
Endagaano zi kawuula taata (ze saamanya)
Taata ez’okusamira aah (ze saamanya)
Endagaano z’abalongo (ze saamanya)
Obukumpanya (ze saamanya)
Okunyaga abantu bo (ze saamanya)
Zonna mponya (ze saamanya)
Ze nakola neebase (ze saamanya)
Ze baakola nga simanyi (ze saamanya)
Bwe nali ndi baby (ze saamanya)
Endagaano banjalula (ze saamanya)
Endagaano z’obulyazaamanya (ze saamanya)
Ku ggwe kino kikomye (ze saamanya)
Okulya ebiweebwayo (ze saamanya)
Olugambo (ze saamanya)
Endowooza (ze saamanya)
Ebikolwa byabwe (ze saamanya)

Mukama mponya endagaano (ze saamanya)
Eza jajja wange (ze saamanya)
Yesu mponya endagaano (ze saamanya)
Eza ssenga wange (ze saamanya)
Yesu mponya endagaano (ze saamanya)
Eza taata wange (ze saamanya)
Yesu mponya endagaano ezo (ze saamanya)
Eza maama (ze saamanya)
Endagaano ze ŋŋamba (ze saamanya)
Ziri mu linnya lyange (ze saamanya)
Zitaase abaana bange endagaano ezo (ze saamanya)
Ka zikome ku nze (ze saamanya)
Zimaleewo ssebo n’omusaayi gwo Yesu (ze saamanya)
Endagaano ezo (ze saamanya)
Mukama ekimala kimala (ze saamanya)
Nkimanyi ekimala kimala (ze saamanya)

Zisangule n’omusaayi gwo (ze saamanya)
Zisangule n’amaanyi go ssebo (ze saamanya)
Zisangule n’okusaasira kwo (ze saamanya)
Zisangule n’obuyinza bwo (ze saamanya)
Wagamba olisaasira bangi (ze saamanya)
Boolisaasira mu maanyi go Mukama (ze saamanya)
Nange nteeka mw’abo (ze saamanya)
Saasira, sangula (ze saamanya)
Zisangule (ze saamanya)
Ndi bubi taata zintwala (ze saamanya)
Yesu wange gwe ddagala (ze saamanya)
Nze ze saamanya (ze saamanya)
Mukama nali muto nnyo ssebo (ze saamanya)
Nkusaba onsaasire (ze saamanya)
Nali muto neebase (ze saamanya)
Nali mu kibaya ssebo (ze saamanya)
Banjalula naye nnyamba (ze saamanya)
Eeeh eeeh eeh

Submit Corrections