Jah Live
Hmmm!
Pallaso, Pastor
Hmmm
Waguan
Hmmmmm
Hmmmmm
Bassboi

Both
Mpeereza emmunyenye
Enkulembera kumakya
Mpeereza emmunyenye (ooh)
Enkulembera mu kiro (Katonda wange)
Mpeereza emmunyenye (mpeereza emmunyenye)
Enkulembera kumakya (ooh)
Mpeereza emmunyenye (mpeereza emmunyenye)
Enkulembera mu kiro (cce)

Bugembe
Mukama Katonda eyantonda
Nsaasira nkusumbuwemu katini
Simanyi oba ebiri ku ttivvi naawe obiraba
Ebiri mu nsi yattu gyewatonda
Laba abalala batta bannaabwe!
Baloga bannaabwe, bawaayiriza ne bannaabwe
Hmmm ono yabba munne
Kyokka ate mu kkooti baamusingisa munne!
Hmmm nze nkusaba onkuume
Obwana bwange, maama wange ne Pallaso
Hmmm nze nkusaba onkuume
Mpeereza emmunyenye enkuume emisana n’ekiro

Both
Mpeereza emmunyenye
Enkulembera kumakya
Mpeereza emmunyenye (ooh)
Enkulembera mu kiro (Katonda wange)
Mpeereza emmunyenye (mpeereza emmunyenye)
Enkulembera kumakya (ooh)
Mpeereza emmunyenye (mpeereza emmunyenye)
Enkulembera mu kiro

Pallaso
Nsaba byewagereka bituuke
Ensi ogiteekemu emirembe
Ab’emitima egyaguba gikyuke
Oh bandabenga n’ekisa
Mukama wadde byenjagala bingi
Nonderaamu ekyo ky’omanyi ekirungi
Ne ku mirimu eyo byempitamu bingi
Mpanguza wawanguza Dawudi
Nkwesiga nze gwe ngabo yange
Nga balabye abo abalwana nange
Mpa emmunyenye yo ndaba omukisa gwange
Mukama teri akusinga maanyi, weereza

Both
Mpeereza emmunyenye (hmm nsinza linnya lyo)
Enkulembera kumakya (hmm erinnya lyo Mukama)
Mpeereza emmunyenye (ooh)
Enkulembera mu kiro (Katonda wange)
Mpeereza emmunyenye (mpeereza emmunyenye)
Enkulembera kumakya (ooh)
Mpeereza emmunyenye (mpeereza emmunyenye)
Enkulembera mu kiro

Dear God
I need you more than ever
Please bring peace to my confusion
Joy to my sadness
And hope to my heart
In Jesus’ name I pray, Amen
Amen!

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin