Eeeh eh
Eeeh eh
Ooh
Abange byampuna kubanga simanyi na bwembinyumya nemmaliriza
Ababadde abambazi b’amakooti beeyambudde emikwano gibabigula
N’abakyala bawoza tokitya nsimbi z’omuwa ng’okola ky’oyagadde
Kati siriimu tumutya misana n’amaloogi kw’olabira gajjuza luno
Omunyazi afunye remote empya ey’omukwano gy’akozesa n’osavuwala
Kasita gukutambuza serebu n’amakooti gy’ogaleka n’otabaala
Naye emikwano gitugonza gitya nootakubamu ng’omenya ky’olayidde!
Nze bukyanga mmenyeka na kkooti ekyannaawudde mbiguke kyantabudde!
Nkyebuuza ekisa wekyanvudde nemmalirira omukwano gwampemudde!
Nga bulijjo mmugonza n’amaaso nengabuuka (oh no no)
Nembeesonyiwa nembaviira
Naye luno ekitiji kya munnange Erunayida okunsuuza engabo
Nagenze buggo (eeh eh)

Oooh oh nfudde nze, nagenze buggo
Omukwano gwanzibye naye amaaso, nagenze buggo
Oooh oh nfudde nze, nagenze buggo
Omukwano gwanzibye naye amaaso, nagenze buggo

Okuggyako obuyinza bwa Mukama ebintu byendaba mpaawo atalemererwa
Ne kabuuti ezanditaasizza twakizudde nti omukwano guziyigula
Ekirala ojja n’okubyamu ani anaakuloopa nga wonna wootunuulira nzikiza
Nga n’ebiyenje mwabifuuyidde mpaawo ky’olaba mu nju newegazanya
Ne munno eyandikugambyeko nsonyi zaafuna ku maaso n’azibiriza
Laba sitaani bw’akuwembejja nootatya kufa nga wekkata agakolimo
Abasinga mutabaala buswa totulimba (eh)
Gwe tunula gy’ovudde
Ne gwewali weekeka wamala n’ogonda (eih eh)
Leka kunvuma busiru
Wuuyo yeetegekera kuzaalira na baana oba nga tonnakimanya, ali mu ntegeka bambi

Simanyi oba ebigambo byennyimba byali bikutuuseeko olw’omukwano
Ddayo ku mikululo okebere tomalanga geegaana ojja kutanga
Kati nze bwenkunyumiza ebyange onsaasira
Abadde yeekukulidde mu nkaajumbe
Omuntu okumwesiga ng’era ndwawo
Abawala bansoomooza nze nkunnumba
N’okuzaala nakweresa nga ntya abantu
Kabuuti nenzigulanga nga ntwala eka
Naye nga gwenzitwalira tutte ekyama
Y’alina kyandowooleza ng’akuumiira
Ng’era ambuuza nnyo bwembeera eka
Mbu lwaki simwesiganga ku myezi ena?
Nange nemmugumya nnyo nga nsiisiitira
Nti ogira olindako luno bamale okwaza
Olulala yadda na ccupa ng’ajja asiiya
Mbu Lutalo mwana wa ssebo jangu onyweko
Kumbe asindula embuzi ogiriisa kaamukuulo naye temunsekerera
Maanyi ga sitaani bw’atyo

Nga naawe ojjukira
Eeh eh, eeh ooh
Lwewagenda obukunya, nga weemugunyamugunya
Eeh eh, eeh ooh
Nga naawe ojjukira
Eeh eh, eeh ooh
Lwewagenda obukunya nga weemugunyamugunya

Bangi bandowooleza obusiru n’obujinga kambaleke siikigaane
Naye nga gaali maanyi ga mukwano n’olwengenge okunsuuza obubonero
Nkujjukiza we nakomye ng’ampa omwenge
Amaaso gantunuuliza ge g’essimbo
Eccupa olwagimalamu ng’aleeta ndala
Nze nange nemmwesooka nti ebe ey’enkya
Yadda mu maziga ng’awoowoola
Nti Rutaro ebintu by’okora awo oba orimba
Mu mazima nakwagara nkurina ensonga
Kko nze oba wajja kunzita bampe obuntu
Rutaro k’obyambarayo nze enkya ngenda
Nakooye ebya kookonyo funayo omurara
Ng’eno akolima bw’asomba ebintu
Ddaaki nenterebuka ntunde omwoyo
Kyenava mwewungulako nkaleke emmanju
Omukwano gummyumyudde nzenna ntaawa
Labayo bw’andayiza n’aga Katonda
Nga mmutwala we nakasuula akakase amazima
Y’ankuba ne pekiseni gw’okyazannya, bannange Erunayida!

Naalaba namujinga ono okuntemya obutula bwange ebbali wennogerera
N’emikwano egitambuza serebu gyannyiye leka nsigaze egyokulwayi (ooh)
N’ekkooti zigwana ku ggwanga gyotadde nkya kulaba nswagiro
Kati muziyita galimpitawa n’eyafiisa bw’omufuna osiisira
N’ebiriva mu kiwoomereze olw’amasanyu ng’ekkooti oyambula
Abalala bazisuna busunyi n’emufuukira mu bulago ekyambika
Wabula abakyala n’abaami kyembagamba mwekuume omwenge
Kiba kibi okujjukira enkeera bwoteebisse nga tokyayambibwa

Eeh eh eh eh
Nga naawe ojjukira
Eeh eh eeh ooh
Lwewagenda obukunya, nga weemugunyamugunya
Ooh oh ooh oh
Nga naawe ojjukira
Eeh eh, eeh ooh
Lwewagenda obukunya

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin