Hehehehehe eeh
Naye Sebatta gwe!
Aaah!
Hmmm!

Abange byampuna kubanga simanyi
Na bwe mbinyumya ne mmaliriza
Ababadde abambazi b’amakooti
Beeyambudde emikwano gibabigula
N’abakyala bawoza tokitya
Nsimbi z’omuwa ng’okola ky’oyagadde
Kati siriimu tumutya misana
N’amaloogi kw’olabira gajjuza luno
Omunyazi afunye remote empya
Ey’omukwano gy’akozesa n’osavuwala
Kasita gukutambuza serebu
N’amakooti gy’ogaleka n’ogalaata
Naye emikwano gitugonza gitya
Nootakubamu ng’omenya ky’olayidde!
Nze bukyanga mmenyeka na kkooti
Ekyannaawudde mbiguke kyansobedde!
Nkyebuuza ekisa wekyanvudde ne mmalirira
Omukwano gwampemudde
Nga bulijjo mmugonza n’amaaso ne ngabuuka
Nembeesonyiwa nembaviira
Naye luno ekitiji kya munnange Erunayida
Okunsuuza engabo, nagenze buggo

Okuggyako obuyinza bwa Mukama
Ebintu bye ndaba mpaawo atalemererwa
Ofundako nga basala myaka
Omuntu n’afuna kalenda n’abalirira
Ne kabuuti ezanditaasizza
Twakizudde ng’omukwano guziyigula
Ekirala ojja n’okubyamu ani anaakuloopa?
Nga wonna wootunuulira nzikiza
Nga n’ebiyenje mwabifuuyidde
Teri ky’olaba mu nju newegazanya
Ne munno eyandikugambyeko
Nsonyi z’afuna ku maaso n’azibiriza
Laba sitaani bw’abawembejja
Nootatya kufa nga wekkata agakolimo
Abasinga mutabaala buswa totulimba
Gwe tunula gy’ovudde
Ne gwe wali weekeka wamala n’ogonda
Leka kunvuma busiru
Wuuyo nno akusuubiza kuzaalira ku baana
Oba nga tonnakimanya, ali mu ntegeka bambi

Simanyi oba ekigambo kyennyimba
Kyali kikutuuseeko olw’omukwano
Ddayo ku mikululo okebere
Tomalanga geegaana ojja kutanga
Ye olaba gumegguza abanene ab’ebitiibwa
Nabo nebeefukulula!
Ow’essanyu erituukiridde nabo tobagaanira
Kabuuti bazisawuka
Kati nze bwe nkunyumiza ebyange onsaasira
Abadde yeekukulidde mu nkaajumbe
Ng’omuntu okumwesiga ng’era ndwawo
Abawala bansoomooza nze nkunnumba
N’okuzaala nakweresa nga ntya abantu
Kabuuti nenzigulanga nga ntwala eka
Naye nga gwenzitwalira tutte ekyama
Y’alina kyandowooleza ng’akuumiira
Ng’era ambuuza nnyo bwe mbeera eka
Nti lwaki simwesiganga ku myezi ena?
Nange ne mugumya nnyo nga nsiisiitira
Nti ogira olindako luno bamale okwaza
Olulala yadda na ccupa ng’ajja asiira
Nti Fred mwana wa ssebo jangu onyweko
Mpozzi asindula embuzi ogiriisa kaamukuulu
Naye temunsekerera, maanyi ga sitaani bwatyo

Oooh
Nga naawe ojjukira
Lwe wagenda obukunya

Bangi bandowooleza obusiru
N’obujinga kambaleke siikigaana
Naye nga gaali maanyi ga mukwano
N’olwengenge okunsuuza obubonero
Nkujjukiza we nakomye ng’ampa omwenge
Amaaso gantunuuliza ge g’essimbo
Eccupa olwagimalamu ng’aleeta ndala
Nange ne mwesooka nti ebe ey’enkya
Yadda mu maziga ng’awoowoola
Nti Fred ebintu by’okola awo oba olimba
Mu mazima nakwagala nkuliko ensonga
Kko nze oba wajja kunzita bampe obuntu
Fred k’obyambalayo leero ŋŋenda
Nze nkooye ebya kookonyo funayo omulala
Ng’eno akolima bw’asomba ebintu
Ddaaki nenterebuka ntunde omwoyo
Kye nava mwewungulako nkaleke emmanju
Omukwano gummyumyudde nzenna ntaawa
Labayo bw’andayiza n’aga Katonda
Nga mmutwala we nakasuula akakase amazima
Y’ankuba ne pekiseni gwe okyazannya
Bannange Erunayida!

Oooh
Nga naawe ojjukira
Lwe wagenda obukunya

Naalaba namuzaga ono okuntemya
Omutula gwange eka gwe nogerera
N’emikwano egitambuza serebu
Gyantamye leka nsigaze owokulwayi
Wadde nga mwagifuula twekisize
Nootojjukira kkonde vvannyuma
Condom zisaana ku ggwanga
Gyotadde nkya kulaba nswagiro
Kati muziyita galimpitawa
N’eyafiisa bw’omufuna osiisira
N’ekiriva mu kiwoomereze
Olw’amasanyu ng’ekkooti oyambula
Olinkakasa bwe nnyimba lw’erikwetamwa okugifuula engabo
Ng’efuuse ebimuli mu ssaati n’oguumaaza omulabi anaageya
Abalala bazisuna busunyi
N’ekufuukira mu bulago ekyambika
Wabula abakyala n’abaami
Baana battu mwekuume omwenge
Kiba kibi okujjukira enkeera
Bwoteebisse nga tokyayambibwa
Bw’olabanga omuntu mutima nga tomwesiga
Amagezi ge nkuwa, leka
Okusinga lwe weesiga kabuuti eneekwabulira
Essaawa esembayo, mu ddwaniro

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *