Mukama nkusaba mpa oluyimba
Mu mutima gwange
La la la la la la
Yeah yeah yeah yeah eh heh
Waliwo bingi ebinsobera
Olunaku ne luggwaako
Guugwo mwezi paka mwaka
Ng’essanyu sirabyenako
Emirimu gigaanye
Amabanja ne gantunuulira
Abampalana ne baseka, eh
Nga naye muli nzikiriza
Mukama olamula era owulira
Ebintawaanya nkuloopere, aaah
We nemeddwa nkusumbuwe, aaah
Lwakuba simanyi simanyi mulala asinga ku gwe
Kale nkusaba mpa oluyimba mu mutima gwange
Eh mpa oluyimba olunzikakkanya
Nga bwe mba nkooye
Nnyimbe ku luyimba lwo
Mu kiwonvu eky’okufa Mukama
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya (eh mpa oluyimba)
Eh mpa oluyimba mu mutima gwange
Eh mpa oluyimba olunzikakkanya (olunzikakkanya)
Nga bwe mba nkooye (nkooye)
Nnyimbe ku luyimba lwo
Mu kiwonvu eky’okufa Mukama
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Amaanyi amaanyi amaanyi
Waliwo lwe mpulira nga gampedde
Nnyweza ebigere byange, aaah
Nneme kuseerera, aaah
Kati ondage omukisa, aaah
Awali ekikolimo
Nsaba bube buwanguzi
Awali okulemererwa
Nkutule ebikoligo, aaah
Ebinsibaasiba, aaah
Bwe liba essuubi limpeddemu
Nsaba ndabe ekitiibwa kyo
Bingi byannema dda
Kati Mukama golokoka, oyake!
Mpa oluyimba olunzikakkanya
Mukama mpa oluyimba
Nga bwe mba nkooye
Ooh mpa oluyimba
Nnyimbe ku luyimba lwo
Mukama mpa oluyimba
Mu kiwonvu eky’okufa Mukama, ooh
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Aah mpa oluyimba
Eh mpa oluyimba mu mutima gwange
Mukama mpa oluyimba
Eh mpa oluyimba olunzikakkanya, oooh
Nga bwe mba nkooye
Ooh mpa oluyimba
Nnyimbe ku luyimba lwo
Eeh mpa oluyimba
Mu kiwonvu eky’okufa Mukama
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya, eeeh!
La la la la la la
Yeah yeah yeah yeah eh heh
Eh Mukama ebintawaanya byonna
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Ndeka ndukoowoole, ndukoowoole
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Eeh, Mukama abalogo ba kuno babi
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Abalabe bange bakakkanye
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Ooh mukoowoole, mukoowoole
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Eeeh
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Ndeka mukoowoole, mukoowoole
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Oh Mukama ebintawaanya byonna
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Guno omutima ogumpakunkana buli lukya
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Ng’amaanyi bwe ganzigwaamu
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Ebyange ebinemerera byonna
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Ensimbi bwe zimbula ŋume
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya
Ndeka ndukoowoole, ndukoowoole
Nkoowoole oluyimba lwo oluggya