Mirembe Maria Lyrics – Catholic Church
Mirembe Maria nnyaffe ajjudde enneema
Gwe namukisa mu bakazi ensi gy’ekoma
Muzadde wa Kigambo Yezu Omulokozi
Mirembe Maria mirembe
Tutenda Maria nnyaffe asinga Eva
Ye namukisa Namasole eyasiimibwa
Muzadde w’Omutonzi ataggwa kutendebwa
Mirembe Maria mirembe
Wankaaki w’eggulu Maria ayinza ebinene
Ffe abaana bo tusaanire tukwesige
Muzadde wa Katonda nnyaffe atasangika
Mirembe Maria mirembe
Kabaka w’emirembe ffe tuzze gy’oli
Gwe eyakwasibwa ensi eno n’abaminsani
Entalo n’entalo gwe nnyaffe bituwonye
Mirembe Maria mirembe
Luliba lukulu naffe lwe tuliwangula
Ffe abalamazi Mukama n’atusaasira
Ffe abaana bo abaganzi nnyaffe tuwanguze
Mirembe Maria mirembe