Show 
Show time 
A one Nélliko Ram
Roman on the beat

Mbu, mbu mbu mbu
Mbu, mbuusabuusa   
Mbuusabuusa
Sibyekakasa mbuusabuusa
Mbu, mbu mbu mbu
Mbu, mbuusabuusa   
Mbuusabuusa
Sibyekakasa mbuusabuusa

Wamma mbu
Mpulira bagamba mbu 
Mbu, eyawangula ssi y’afuga 
Simanyi oba bya ddala
Simanyi oba na kusaaga
Mpulira abagamba mbu oli mulogo
Mbu, era ne bano wabaloga
Mbu, kye wava wafuna obugagga
Simanyi oba bya ddala
Simanyi oba na kusaaga
Wamma mbu, ebyo ebizimbe ssi bya Ham? 
Mbu, eyaleeta eddiini y’eyaleeta ne siriimu?

Mbu, mbu mbu mbu
Mbu, mbuusabuusa   
Mbuusabuusa
Sibyekakasa mbuusabuusa
Mbu, mbu mbu mbu
Mbu, mbuusabuusa   
Mbuusabuusa
Sibyekakasa mbuusabuusa

Mpulira abagamba mbu
Mbu, akasajja katusibyeko obwavu 
Mbu, mbu buli akazoganya kamufata
Simanyi oba boogera kasajja ki!
Oba bannayuganda baagala ki?
Wamma mbu, gundi yalya? 
Mpulira bagamba mbu nno yalya
Wamma tugambe walya oba tewalya?
Anti answer ya kkoyi kkoyi kulya 
Buli omu anoonya w’anaalya 
Wano olya wali tolya 
Nange temujja ndya

Mbu, mbu mbu mbu
Mbu, mbuusabuusa   
Mbuusabuusa
Sibyekakasa mbuusabuusa
Mbu, mbu mbu mbu
Mbu, mbuusabuusa   
Mbuusabuusa
Sibyekakasa mbuusabuusa

Bannakampala nga boogera!
Ku social media ebigambo nga babisala
Ku mutimbagano abaana nga bamokkola
Alina n’atalina bonna boogera 
Teri gwe batya buli omu bamuyeekera (buli omu)
Naye ffe ki Uganda kyaffe kitunyumira
Ogula buguzi data ng’onyumirwa 
Emboozi z’enkwacco n’emboozi z’amalwa (ddala)
Ndowooza lwa bbulwabikolwa
Uganda zzaabu Mungu watuwa
Uganda enyuma
Uganda olemwa 

Mbu, mbu mbu mbu
Mbu, mbuusabuusa   
Mbuusabuusa
Sibyekakasa mbuusabuusa
Mbu, mbu mbu mbu
Mbu, mbuusabuusa   
Mbuusabuusa
Sibyekakasa mbuusabuusa

Bino byo bya mbu 
Sibyekakasa, temubiraalaasa

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *