Nessim Pan Production

Okomyewo mbadde nkulinda
Essaawa nga ndaba egenda
Ddala obadde n’ani ku ssaawa mwenda?
Ani oyo akusendasenda?
Akagaati nkateeke ku sauce?
Oba nkuwe ttoosi?
Leero tunaazannya ka dice?
Oba ka card?
Otuzzi oyagala twokya?
Yogera boss
Empewo esiibye enfuuwa olunaku lwonna
Ng’ate yeggwe ambikka
Yeggwe kabuuti yange

Kaakati otuuse
Bikka bikka, mbikka
Eno empewo esusse
Bikka bikka, mbikka
Kaakati otuuse
Bikka bikka, mbikka
Eno empewo esusse
Bikka bikka, mbikka

Tombuuza, nze mukwano tombuuza
Nti ofumbyewo ka ki?
Nga yenze nnyini ttooke
Bintiisa nze bw’olwayo ennyo bintiisa
Ne mbeerawo wano nga sseetegeera
Akagaati nkateeke ku sauce?
Oba nkuwe ttoosi?
Otuzzi oyagala twokya?
Yogera boss
Nkubuuza nkateeke ku sauce?
Oba nkuwe ttoosi?
Amaaso ogatadde ku chess?
Oba ku face?
Empewo ebadde enfuuwa ng’era nkulinda
Kaakati ate otuuse, kiki ekigaana?

Kaakati otuuse
Bikka bikka, mbikka
Eno empewo esusse
Bikka bikka, mbikka
Kaakati otuuse
Bikka bikka, mbikka
Eno empewo esusse
Bikka bikka, mbikka

You’re my Ronaldo
Sitaku wacha bado
Nkwagala byaddala
Tutakupendereza paka kesho
You’re my Ronaldo
Sitaku wacha bado
Nkwagala byaddala
Tutakupendereza paka kesho

Kaakati otuuse
Bikka bikka, mbikka
Eno empewo esusse
Bikka bikka, mbikka
Kaakati otuuse
Bikka bikka, mbikka
Eno empewo esusse
Bikka bikka, mbikka

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *