Hmmm
Bo bo bo bo bo bo
Hmmm hmm hmm
Nessim Pan Production

Levixone
Kamya yali mugezi nnyo bweyali asoma mu kibiina
Nga buli mwana ekimudaaza, ye tayinza kigwa
Yeeresa disco n’asula mu kurevisinga
Yasoma bulungi ne bamutikkira
Ne yeesunga okola
Naye omulimu gwabula
Yonna gyeyagenda okugusaba
Era diguli ye yamusala ennaku n’eruma
Kati yafuuka toilet attendant mu Kikuubo w’aggya z’asasula abamubanja
N’akazigo mw’asula
Ekimunyiiza agaali agasiru mu kibiina galina emirimu gavuga mpya
Mwana wa gundi yajuna, ooh

Levixone
Bw’omubuuza agamba mbeera mbeera mbeera
Ekimbonyaabonya mbeera mbeera mbeera
Omulimu sigwagala naye mbeera mbeera mbeera
Ekigunkozesa mbeera mbeera mbeera

Morgan
Edgar, ayambala ng’omukazi ekiro ne yeeyita Zeridah
N’afera abasajja eh obiwulira
Ebintu by’ayogera Edgar bw’aba afera
Bannange bisesa
Nze eby’abasajja nali nabyekuba
Bampe chips ne vodka
Baby nze saagala kunjiwa
Are you sure togenda kudduka?
Yeekoza, abayitika ne bazimuwa
Abamugwaamu ne bakuba
Naye era Edgar, oluwona
Ng’akwata wiigi ye ng’addayo fera
Nga baddamu nga bakuba yiii!!

Morgan
Bw’omubuuza agamba mbeera mbeera mbeera
Ekimbonyaabonya mbeera mbeera mbeera
Bankuba naye mbeera mbeera mbeera
Nzirayo lwa mbeera mbeera mbeera

Both
Naliko mu mbeera
Yesu y’anzigya mu mbeera
Naliko mu mbeera
Yesu n’anzigya mu mbeera nange
Asobola asobola Yesu (yeah yeah)
Asobola asobola asobola Yesu (asobola muganda wange)
Asobola asobola asobola Yesu (asobola okukyusa embeera)
Asobola asobola asobola Yesu (asobola muganda wange yeah)
Asobola asobola asobola Yesu (asobola okukyusa embeera)
Asobola asobola asobola Yesu (yeah yeah yeah yeah)
Asobola asobola asobola Yesu (asobola muganda wange)
Asobola asobola asobola Yesu (byonna ebyakusiba)
Asobola, asobola, asobola Yesu (asobola muganda wange)
Oh ah ba, oh yeah yeah
Asobola, asobola Yesu
Asobola, asobola Yesu
Asobola, asobola Yesu
Asobola, asobola Yesu
Asobola, asobola Yesu
Eh yeah

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin