Malayika Lyrics – Mowzey Radio

Yonna gye weekwese
Atumye malayika zijje zikukwekule
Ne bye weetisse
Atumye abayambi be bajje bakutikkule
Yonna gye weekwese
Atumye malayika zijje zikukwekule
Ne bye weetisse
Atumye abayambi be bajje bakutikkule

Abatalina maaso ate be bamulaba
Abalina amaaso ate tebamulaba
Abalina amatu be batamuwulira
Ba kiggala abatawulira bamuwulira
Abalina amannyo be batafuna nnyama
Abatalina mannyo nga balwana n’ennyama
Alina emikono ate y’atawanika
Atalina mikono ate y’agiwanika
Alina amagulu ye  ate y’atabuuka
Atalina magulu ng’ate y’amubuukira
Alina ebingi ate y’atasiima
Alina akatono ate ye y’asiima Jah

Ooh aah
Malayika zikukwekule
Bajje bakutikkule
Malayika zikukwekule
Eeh eeh bakutikkule

Zonna essaala z’abalala aziwulira
Gwe z’osaba, ogamba taziwulira
Ogenda mu kkanisa n’osaba omuweereza
Ate n’agemulira abatamuweereza
Buli kintu ky’okola tekikugendera
Be wali okulembera tokyabalengera
Baagenda mu maaso kuwuuba bendera
Ah gwe obakwatira kkira
Ssaawa, eno y’essaawa
Eno y’essaawa ye ssaawa yo
Gwe saba awulira, yeah eh

Abalina eddoboozi kale tumuyimbire
Abatalina waakiri bakube eŋŋoma
Tuwanike emikono Mwoyo tumuwuubire
Hmmm malayika za Katonda zituwulira
Buli amuwuubira, gw’atunuulira
Atutaddeko amaaso, ky’ova olaba
Ky’ova olina omukka gw’ossa bwe weebaka
Abeerawo ng’akukuuma n’agoba ensiri
Abambejja n’abalangira atuwe engule
Abasibiddwa enjegere azikutule
Abazitoowereddwa obuzito babutikkulwe eeh
Abasibiddwa, basumululwe ee yeah

Malayika zikukwekule
Bajje bakutikkule
Malayika zikukwekule
Eeh eeh bakutikkule

Submit Corrections