Mary Bata Music
Nga tolina akwagala oba madowadowa
Oba ku bbala lya ngo
Nga tonamufuna toba ku natural colour
No nedda
Ofaanagana ne nawolovu
Naye nga wafunye akwagala ebiriyo n’obinyumirwa
Onyirira mu double
Nze okuva lwe nakufuna kati nnyirira mu double
Buli kimu nkifuna mu double
Okuva mu buto bwange
Taata yaŋŋamba nti omuntu okufuna essanyu
Ateekwa kuba na ssente
Ekyo ne nkiyiga ne nzikola era zaawera
Olwo nno ne nninda ndabe
Oba amasanyu ndigamalayo mu nsi
Buli kalungi ne nkalyako
Olunnyuka amasanyu ne nzirayo ewange mu guyumba
Nnyabo ne gunzimbirira
Ntunula ku hanger ndabako buleega na mini
Yaka naggwaako
Nzikiza n’enkanga
N’emiyaayu ne gikaabira wabweru
Nalaba binsusseeko
Ne nkubira mummy ampabulemu daddy bye yagamba
Ko nze Hullo mummy
Eyo ewammwe muli mutya sweet?
Eno ewange bintabuseeko
Mpulira obulamu bundaluseeko
Ssente zo naziweza
Naye essanyu daddy lye yaŋŋamba lye ssiraba
Kibuyaga akunta nnyo ebweru
Nsombabyuma zinkanga nnyo
Ebiwuggulu bikaaba nnyo ewange
Kye nsaba maama banfunireyo security
Maama yaŋŋamba
Oyo daddy wo yakulimba Bata
Akaseko k’omukazi
Bulijjo kasibuka ku kitanda kw’asula
Mbu n’emmese ezitaayaaya mu nnyumba
Bwe ziwulira eddoboozi ly’omusajja zidduka
Ekirala kye yaŋŋamba maama
Nga tolina akwagala oba nga ka nnawolovu
Amabala gakyuuka
Yayongerako naŋŋamba
Nnyabo ne bw’oba n’emmotoka ezitemagana ng’ebimyanso
Ng’osula mu zzaabu
Ebyo omukwano tegubimanyi mbu gukuwanula
Ne bw’oba n’ennyumba
Ng’erimu buli kimu ky’omanyi eky’omulembe
Nga tolina abiita
Eyo ebeera mpuku gwe kimanye osula magombe
Osingibwa Diana
Asula ku kafaliso kamu naye alina olulenzi
Nnyabo tewerimba
Ennyumbayo mata naye manya ebulamu kikoloboza
Ebyo ebikere ebitemba mu nju
Bikujooga lwakuba mu nju temuli adodooma
Nze n’emiyaayu gyaggwaayo ewange
Giwulira ayogera giba gimanyi tiger
Nze n’empewo nagissaako amaanyi
Kati yasigaza kkaza masaati ku wire nze natereera
Oli mulungi
Era weeyita nnalulungi
Kale wakula bulungi
In your status oli bulungi eyo
Ba nnalulungi bangi bali eyo
Tebalina basajja
Bavuma, baziimuula, bayisaamu amaaso
Buli abaganza
Beeyita ba slay queen
Naye n’emyaka giriko end
Funa obufumbo otuule afazaali
Vva ku bino ebya panda bed
Nnyabo tewerimba
Nkulabudde, kikwano
Emmese nebwegejja etya
Eba ya kkapa tewewanika munnange
Buno obulamu mw’otambulira
Nkugamba colour yo entuufu
Oggya kugimanya ofunye omubeezi
Ewange kiri okay
Wabula ewange kiri kw‘alaali
Mundeke na chilling-a
Ye ng’ogiggya wa?
Naye nga wafunye akwagala, hooo
Nze okuva lwe nakufuna,
Mubuuze ono okuva namufuna
Okuva lwe namufuna
Anti ninga ng’omwana omuto
Baby okuva lwe nakufuna
Ne bwebiba bino ebigambo sibiwulira
Paddy man
Audio One
Oh oh oh oh
Maama, Love eno!
Mary Bata Music
Lt herself multiply by 0.
you are the best