Both
Ah wano waliwo embiranye
Producer Eddie Dee gyayo ebidongo
The A to the G to the E N T
Okuva mu Clear Touch baaba
Saavam Music

Agent
God Lwotaleeta
He called Gabriel n’amugamba bambi kwata
Obubaka mu bbaluwa eyo
Butwalire Da Agent akulukuta
Mugambe musiimuddeko ennaku
Olw’okuba y’alina talanta
Ye nno twalwa?
Laddu nekuba ng’olwo nno nkyafuluuta
Kiro matumbi saawa mwenda
Nkyukakyukira mu bikuuta
Okubwatuka
Ekiddedde oba nno nandisisimuse?
Magamaga otunula ku mulyango nga malayika atuuse
Ko nze gwe ani?
Nze Gibuliiru nva straight wa Katonda
Wa Katonda!
You mean God who at from heaven?
Ani gw’osiriwaza gundi nga sinakulya kibooko?
Mbuulira ye oyingidde otya nga sinakulya slap?
Ko ye kakkanya obusungu
Ate tonkuba mu luzungu
Kwata ebbaluwa from God sirina budde nzirayo mangu
Ekiyongobero ensonyi okuswala ne mpulira n’embiro
Omusomesa okuddamu Gibuliiru bubi nga ndaba nsaana bbulo
Natuula katebe mu kiro nkoleeze ettaala nsabuukulule ebbaluwa
Mu ink eya blue ku lupapula Katonda yawandiika agamba
Dear Agent
Ssebo akulukuta
Okyusizza Lugaflow kyokka tolina hit
Ate sandiyagadde kusindika eyo mu illuminati
Gwe ddayo mu buyimba bwe mwayimbanga mu buto
Bwe mwakookanga
Bw’oba okuba
Bw’oba ozza
Yours faithfully the God
Ko nze hmm, uhmm
Ne mbigatta ne nzijukira akayimba akannyumiranga mu buto
Kali ka Maayi era kagenda bwekati

Both
Ayiye amata
Maayi ayiye amata
Siba ah
Sumulula
Aah nyenya ebbina
Ah ah ah ah aha
Wanika evvako
Ah ah ah ah aha
Baligamba twaliko kko
Ah ah ah ah aha
Agent mu ŋŋoma eŋŋanda
Ah ah ah ah aha
Eh walalalalala
Ah ah ah ah aha
Oh naffe twaliko baaba
Ah ah ah ah aha
Eh naffe twayawula
Ah ah ah ah aha
Bwe ppa
Bwe ppa
Bwe ppa

Agent
Hip hop
Matu ga mbuzi baagansiba engo nenzira teyannuma
Wadde yammeketa nali nkaawa teyammira
Nakulira ku kyalo gyebatasaba mmere
Nga tebamanyi muwere
Ng’asomyeko ddiguli ye P7
Kakutande otuukeko e Makerere
Bakuloga
Bakutta
Bakutemula
Bakusuula mu myala gy’ovundira
Ate be bamu abajja ku mulambo gwo ne bakusaasira
Empisa embi
Tetwasikira nsikire zaali za buli omu kumpi
Ku kyalo nga teri bya kwevimbyavimbya gundi
Teri mawaggali
Ye otya?
Totya ttalo?
Ekinaanansi, kiiravvi, busekere, buyute
Okuyoola ebigere mpozziko n’okusindika ebiteega
Mugyebaleko
Tebakuddamu basirika anti tebayingiza bidiba budibi
Lwe bafunye amagoba amayembe nago gageddiza
Tobuuza nti mwasuze mutya
Ewaffe ku kyalo basula ku teebukye
Tebaalidde oba okudaala
Automatically ofuna ekinamba
Sosolya bwatafa atuuka ku lyengedde
Bakulimba ewaffe tebengeza bakaza bukaza
N’anti n’ettaka kkolimire
Nze nzekka eyesowolayo nkulukute
N’engule bantikkire
Nga nze mugumu ku kyalo
Omukkakkamu mutima Mukama Katonda antunuulire
That’s why he sent a letter
Ng’omugezi ne ngikwata
Nga mulimu obubaka obw’okuzza oluyimba lwe bayita Maayi olwabula

Agent
Uhmm
Bba bbakubba
Mbasomesa kutubba
Bba bbakubba
Da Agent
Mbakuba Bakisimba
Face to face
Back to back
Tonkuba omugongo
Onsibye akalippo
Munnange wuliriza Oluganda olwa bulijjo
Kirabika kati kikunuguna mu masekati g’ekiro
Bw’ompuliriza nga nkulukutira mu ŋŋoma
Gye bayita Maayi Maayi nyabula

Agent
Maayi Maayi
Maayi Maayi
Siba sumulula

Uhmm

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *