Gutusinze nnyo Ssaabasajja
Bw’osangamu mu ffe abeerumaluma
Ba mimwampewere bwe babaamu mu ffe
Gutusingidde ddala!
Obuyinza bwo ayi Kabaka
Bwava wa Mutonzi waffe
Alikwolekera zimusanze
Alibeera yeesuula mu ntata
Oli maaso moogi musota
Oli kabwejungira bba ffe
Oli manda agamenya embazzi
Ge gamu ate negagizzaawo
Ye magulunnyondo ye guluddene
Y’oyo nantalinnya ku kateebe
Empalabwa mutaddibwamu
Ssaabalongo tokubwa mugongo
Ffe tuli bantu bo bba ffe lagira
Oli mumwo ob’eno olamula
Kasita oteesa ate ani awakanya?
Liba lifuuse etteeka
Kababe ba bitiibwa ssebo obafuga
Abambejja n’abalangira
Obalamula kuba oli Kabaka
Ow’ensi Buganda eno
Oli maaso moogi musota
Oli kabwejungira bba ffe
Oli manda agamenya embazzi
Ge gamu ate negagizzaawo
Ye magulunnyondo ye guluddene
Y’oyo nantalinnya ku kateebe
Empalabwa mutaddibwamu
Ssaabalongo tokubwa mugongo
Abantu b’olina Ssaabasajja
Tulimu enjawulo nnyingi ko
Bannamazima weewaawo bangi
Tekiggyawo bannanfuusi
Abo tebayamba Buganda ssebo
Babaako ebyabwe bye banoonya
Mu nnyanga gyetuva tuliko ebiwundu
Ebyava ku bunnanfuusi
Oli maaso moogi musota (gwe musota)
Oli kabwejungira bba ffe (bba ffe)
Oli manda agamenya embazzi
Ge gamu ate negagizzaawo
Ye magulunnyondo ye guluddene
Y’oyo nantalinnya ku kateebe
Empalabwa mutaddibwamu
Ssaabalongo tokubwa mugongo
Ku namulondo tuula lamula
Ffe tulinga taata abaloota
Mu kukula kwo tewalaba ssanyu
Naye wuuyo olamula
Buli lwetujjukira ennaku gyetwalaba
Ndabiraawo nga mbuuka
Lwa nsonga gyali beene
Ali mu Lubiri alamula
Oli maaso moogi musota (gwe musota)
Oli kabwejungira bba ffe (eeh)
Oli manda agamenya embazzi
Ge gamu ate negagizzaawo (ooh)
Ye magulunnyondo ye guluddene
Y’oyo nantalinnya ku kateebe (kateebe)
Empalabwa mutaddibwamu
Ssaabalongo tokubwa mugongo, ooh
Oli maaso moogi musota (gwe musota)
Oli kabwejungira bba ffe
Oli manda agamenya embazzi
Ge gamu ate negagizzaawo (aah)
Ye magulunnyondo ye guluddene
Y’oyo nantalinnya ku kateebe (ooh)
Empalabwa mutaddibwamu
Ssaabalongo tokubwa mugongo, ooh
Oli maaso moogi musota (gwe musota)
Oli kabwejungira bba ffe
Oli manda agamenya embazzi
Ge gamu ate negagizzaawo
Ye magulunnyondo ye guluddene
Y’oyo nantalinnya ku kateebe
Empalabwa mutaddibwamu
Ssaabalongo tokubwa mugongo, ooh