Yeah maama
Omutima gunnuma maama
Yeah eeeh yeah maama
Omutima gunnuma maama
Oba nkuwe ki maama kubanga nkwagala
Oooh

Omutima gunnumira maama
Mbeera bwenti nendowooza
Nenzijukira omukwano gwe yandaga nga nkula, kuba nkuze
Maama wange, ndikukolera ki?
Okulaga nga bwensiimye
Maama Sarah kirabo kyange
Mu butuufu sirikwerabira

Kanfube nnyo nange nkole
Maama nkuwe buli kye weetaaga
Kuba wankuza bulungi mazima sitoma
Wafuba maama
Kanfube nnyo nange nkole
Maama nkuwe buli kye weetaaga
Kuba wankuza bulungi mazima sitoma
Wafuba maama

Oli musomesa mukulu
Yadde olumu nkunyiiza
Naye omukwano gwo tegukendeera
Ne ku maaso go ngulaba
Lwemba naawe, lwenkola ku kyejo
Nange nemba ng’omwana
Yadde nkuze, balaba nkuze
Naye era okyampita mwana maama!

Kanfube nnyo nange nkole
Maama nkuwe buli kye weetaaga
Kuba wankuza bulungi mazima sitoma
Wafuba maama
Kanfube nnyo nange nkole
Maama nkuwe buli kye weetaaga
Kuba wankuza bulungi mazima sitoma
Wafuba maama

Nikufanyie nini mama
Wankolera ebirungi bingi
Maama (maama)
Nakuwombea ssaala za Mungu
Mungu alikubalikie (maama)
Ye maama
Omutima gunnuma maama
Yeah eeh maama
Omutima gunnuma maama
Oba nkuwe ki maama kubanga nkwagala
Oooh

Bino byenkola sibikola lwakuba nze mbikola lwakuba maama
Yafuba nensoma
Nga kaalya kendyako
Nga n’engoye nziyuza
Nga naye era tandekaawo
Oba nandibadde ntya singa teyandera bulungi maama!
Ntya, oba ntya?
Weebale, era weebale
Ye maama
Omutima gunnuma maama
Yeah eeh maama

Taliiyo taliiyo
Gwenjagala nga gwe maama
Nkiganye taliiyo
Gwenjagala nga gwe maama
Oh leka nfube nkole
Lwenzifunye nkuwe gwe olye
Obulumi mwe wayita nga bungi
Ne kyenkuwa kimbuze
Ebibombo n’oyenga, emmumbwa n’osira, ebikaawa nabyo n’onywa
Naye maama, maama
Nkuwe ki oh!

Kanfube nnyo nange nkole (leka nkole)
Maama nkuwe buli kye weetaaga (akanyama ndeete)
Kuba wankuza bulungi mazima sitoma (ate oba ssente weeziri)
Wafuba maama (maama wange)
Kanfube nnyo nange nkole (gomesi ndeete)
Maama nkuwe buli kye weetaaga (hmmm wakuza maama)
Kuba wankuza bulungi mazima sitoma (hmmm walera maama)
Wafuba maama (wakuza maama)

Kanfube nnyo nange nkole (nkulabirire)
Maama nkuwe buli kye weetaaga
Kuba wankuza bulungi mazima sitoma
Wafuba maama
Kanfube nnyo nange nkole
Maama nkuwe buli kye weetaaga
Kuba wankuza bulungi mazima sitoma
Wafuba maama

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin