Maama Ssuubi Lyrics – Aziz Azion Lyrics

Yeggwe ssuubi
Amaanyi agange gandi mu gwe
Maama Ssuubi
Na bino bye nnyimba nnyimba gwe

Mukwano situdde
Nfuba nnyo ne njiiya akanusu
Akanyama tuwuute, oh na
Nina bingi ebinkwata
N’ondaba nga nze atabafaako eyo
Emikono baagikutte
N’amagulu baagasibye ssiwera
Eyo gye nkolera (gye nkolera)
Nampala w’omusolo antagaza
Buli lwe nfuna ke njiiya (ke njiiya)
Nnoonya ze ntereka teziwera
Buli kimu kya bbeeyi, bei kali
Eno minzaani
Bye twegomba bingi
Tube ng’abo, ba Ramanzaani, oh
Baby no wonder
Bwe tukaaba bagayita masaali
No wonder!
Tulya maziga bo balya manzaali

Nywera nywera mukwano nywera
Gye tugenda tujja kutuuka
Eno embeera ekaabya embeera enyiiza guma
Gye tugenda tujja kutuuka
Nywera nywera mukwano nywera
Gye tugenda tujja kutuuka
Okunyigirizibwa kungi naye mukwano guma
Gye tugenda tujja kutuuka

Ebitunyigiriza nkumu
Tujja kubimala engule tugyambale
Tokoowa totya mbale
Akadde kajja kukya tweyagale
Abaneesimbyeko bangi
Boogera ebigambo bingi
Bakyusizza ne langi
Batunuza obukambwe bungi
Baby jja tugende
Ffe tumanyi obunaku bwaffe
Akadde nga katuuse
Emmwanyi nga zikunkumuse tulonde
Tulonde babe
Yeggwe ssuubi
Amaanyi agange gandi mu gwe
Maama Ssuubi
Na bino bye nnyimba nnyimba gwe
Yeggwe ssuubi
Amaanyi agange gandi mu gwe

Nywera nywera mukwano nywera
Gye tugenda tujja kutuuka
Eno embeera ekaabya embeera enyiiza guma
Gye tugenda tujja kutuuka
Nywera nywera mukwano nywera
Gye tugenda tujja kutuuka
Okunyigirizibwa kungi naye mukwano guma
Gye tugenda tujja kutuuka

Maama w’abaana bange
Ke kadde tweddaabulule
We tutuuse tonvaamu
Omukono kwata ku kkono
Maama gwe maama wange
Kuba enduulu ggwanga mujje
Koowoola abaana baffe
Ab’e Bule n’e Bweya
Tutuuze olukiiko wonna
Tugobe obwavu mu nju
Kubanga eyo, eyo gye nkolera (gye nkolera)
Nampala w’omusolo antagaza
Buli lwe nfuna ke njiiya (ke njiiya)
Nnoonya ze ntereka teziwera
Buli kimu kya bbeeyi, bei kali
Eno minzaani
Bye twegomba bingi
Tube ng’abo, ba Ramanzaani, hmmm my babe
Yeggwe ssuubi
Amaanyi agange gandi mu gwe
Maama Ssuubi
Na bino bye nnyimba nnyimba gwe

Nywera nywera mukwano nywera
Gye tugenda tujja kutuuka
Eno embeera ekaabya embeera enyiiza guma
Gye tugenda tujja kutuuka
Nywera nywera mukwano nywera
Gye tugenda tujja kutuuka
Okunyigirizibwa kungi naye mukwano guma
Gye tugenda tujja kutuuka!

Submit Corrections