Oooh
Eli Arkhis Music

Omukwano gwa maama
Gukirako olugoye olw’ebbeeyi
Olwambalamu nerukaddiwa
Omukwano gwa maama, mulungi tegukaddiwa
Amaaso ga maama
Gasingako amataala ga Benz
Olulikoonako nga lyatika
Omukwano gwo maama, gwaguma tegwatika
Wamma maama seka
Buli bw’ontunulako oti seka
Mummy ebigambo byo ezo lesson ndi muyizi wo
Ewaka ly’essomero lyange

Ŋŋenda wa maama, ŋŋenda wa maama
Mmutwalire ebyange
Ŋŋenda wa maama, ŋŋenda wa maama
Mmulage ebyange
Ŋŋenda wa maama, ŋŋenda wa maama
Mmutwalire ebyange
Ŋŋenda wa maama, ŋŋenda wa maama
Mmulage ebyange

Mummy oli kya magero
Eddwaliro ly’omutima ogumenyese
Mummy oli muntu wa bbeeyi osaana kulamula bukadde
Olwaleero kyenkusaba
Otwalangayo akadde n’onsabirako (kyenkusaba)
Kubanga essaala zo omulungi zikoma ku mutima gwa Katonda
Mummy wansenerako (oh)
Ku mikisa gyo wansenerako
Mukwano wansenerako
Ku bulungi bwo wansenerako

Ŋŋenda wa maama, ŋŋenda wa maama
Mmutwalire ebyange (kale kaŋŋende)
Ŋŋenda wa maama, ŋŋenda wa maama
Mmulage ebyange (kaŋŋende)
Ŋŋenda wa maama, ŋŋenda wa maama
Mmutwalire ebyange (oh maama)
Ŋŋenda wa maama, ŋŋenda wa maama (maama)
Mmulage ebyange (ŋŋenda wa maama aah)

Ŋŋenda wa maama
Eeeh
Ŋŋenda wa maama

Omulungi n’onzijukiza ebirungi ebiri mu kusoma (oooh)
Mukwano n’onzijanjaba bwenalwalanga n’obudaabuda
Dear oli musumba mulungi wanjigiriza okusaba (wanjigiriza okusaba)
N’okwesiga Katonda nenkimanya nti ebintu by’ensi eno byo tebigasa
Wamma maama seka
Buli bw’ontunulako oti seka
Mummy ebigambo byo ezo lesson ndi muyizi wo
Ewaka ly’essomero lyange yeah eh

Ŋŋenda wa maama, ŋŋenda wa maama
Mmutwalire ebyange (ŋŋenda wa maama wange)
Ŋŋenda wa maama, ŋŋenda wa maama
Mmulage ebyange
Ŋŋenda wa maama, ŋŋenda wa maama
Mmutwalire ebyange
Ŋŋenda wa maama, ŋŋenda wa maama
Mmulage ebyange

Yesse Oman Rafiki yeah
Yeah yeah eh
Route Music
Yeah yeah eh
Ŋŋenda wa maama
Ŋŋenda wa maama

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin