Maama nsonyiwa sirina bingi byakkuwa
Byonna obigwanira era ndi eno nkola
Nsabira essaala ssente bwenaafuna
Nzije nkukyalire
Ndi eno omutima gunnuma
Kuba nkimanyi olumu enjala osula
Nsabira maama nja kusenvula mpola
Eyo embeera ngikyuse

Maama
Oh maama (oh maama)
Weebale maama
Byonna maama (byonna maama)
Gwe maama
Oh maama (oh maama)
Weebale maama
Byonna maama (byonna maama)

Maama gwe mukwano gwange Katonda gwe yampa asinga
Gwe buli lw’osaba onsabira
Enzigi nga Mungu anzigulira
Engatto empya, engoye, eby’amasanyu n’obyeresa
Ng’olaba nange nkwetaaga
Maama ndikusasula ntya?
Oli malayika omukazi asinga obulungi
Maama oli ambassador wa Katonda ensulo y’ebirungi
Era na bino byendi byonna gwe wasima omusingi
Mu musana n’enkuba, gwe tewapowa
Omukadde anzaala kano akayimba kako

Maama
Oh maama (oh maama)
Weebale maama
Byonna maama (byonna maama)
Gwe maama
Oh maama (oh maama)
Weebale maama
Byonna maama (byonna maama)

Weebale kutukuza fenna nga tuli kimu
Byonna byewakola seerabira n’ekimu
Nga even in the darkness sitya mbeera mugumu
’cause I know you are stronger than buli kimu
Watwambaza, watwagala
N’ennyimba za Elly Wamala wazinjagaza
Nga buli kyenkola onzikiririzaamu
N’ebizibu ng’obifuula byangu
Teri mukazi akusinga
Teri na yenna alimusinga gwennyimba
Maama you’re the best even okufumba
Ndidde everything naye eyiyo y’esinga
Oli malayika omukazi asinga obulungi
Maama oli ambassador wa Katonda ensulo y’ebirungi
Era na bino byendi byonna gwe wasima omusingi
Mu musana n’enkuba, gwe tewapowa
Omukadde anzaala kano akayimba kako

Maama
Oh maama (oh maama)
Weebale maama
Byonna maama (byonna maama)
Gwe maama
Oh maama (oh maama)
Weebale maama
Byonna maama (byonna maama)

Maama nsonyiwa sirina bingi byakkuwa
Byonna obigwanira era ndi eno nkola
Nsabira essaala ssente bwenaafuna
Nzije nkukyalire
Ndi eno omutima gunnuma
Kuba nkimanyi olumu enjala osula
Nsabira maama nja kusenvula mpola
Eyo embeera ngikyuse
Maama don’t cry no more
I’m not a child no more
Maama don’t cry no moreĀ 
You gonna worry no more
Maama don’t cry no more
Think about me and smile
Maama don’t cry no more
You gonna worry no more

Maama
Oh maama (oh maama)
Weebale maama
Byonna maama (byonna maama)
Gwe maama
Oh maama (oh maama)
Weebale maama
Byonna maama (byonna maama)

See, you gotta love and love your mother
’cause you’ll never get another
See me I believe in love at first sight
’cause I fell in love with my mother
The moment I opened my eyes and saw her
Maama Pallaso, Maama Sucker Free Boss
Maama King of the East, Maama Herbert Skillz
Maama Musumba, Maama Chameleone, Maama Hatboy
Maama Radio and Weasel, Maama Dinari, Maama Akay 47, Maama everybody we love you

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin