Hmmm
Hmmm
Ooh oh
Omukwano gwo nze ye zaabu
Ensi eno gwe ngifunyeemu
Mu baagazi abangi bonna
Maama gwe nnamba emu
Mpawamuka oluusi mu ttumbi oh nnyabo
Nga neerowooza kyendikuwa maama
Nebwenditambula ntya mu nsi eno
Nkikakasa, teriba akusinga
Maama
Saagala nkusiibule mummy
(Saagala nkusiibule)
Ntya nnyo okukulekawo dear
Kinnuma okukikugamba kale
(Kinnuma okukikugamba)
Nti Maama wange weeraba
Saagala nkusiibule mummy
(Saagala nkusiibule)
Ntya nnyo okukulekawo dear
Kinnuma okukikugamba kale
(Kinnuma okukikugamba)
Nti Maama wange weeraba
Ku kasusu akalungi ne langi
Maama gwe wanjawulizaako
Sandibadde kino kyendi
Maama gwe wanfaako
Nja kufuba nkole nnyo ku ssente eziwera
Nkuwenga buli ky′oliyoya maama
Buli ky’olisaba nga ndeeta
Nkukakasa, toojulenga n’akamu
Maama
Saagala nkusiibule mummy
(Saagala nkusiibule)
Ntya nnyo okukulekawo dear
(Ntya nnyo nnyo nnyo)
Kinnuma okukikugamba kale
(Kinnuma )
Nti Maama wange weeraba
(Weeraba)
Saagala nkusiibule mummy
(Saagala nkusiibule)
Ntya nnyo okukulekawo dear
(Ntya nnyo nnyo nnyo)
Kinnuma okukikugamba kale
(Kinnuma okukikugamba)
Nti Maama wange weeraba
Wankuza, wanjola
Wandabirira tewansuula
N′ojula, n’olumwa
Teweebakanga bwe nalwalanga
Ne bye nnakusobyanga bingi nnyo
Nali munyoomi nakutenguwanga
Emikono gyange nga gyonoonye
Wantereeza tewakoowanga
Maama
Saagala nkusiibule mummy
Ntya nnyo okukulekawo dear
Kinnuma okukikugamba kale
(Kinnuma nnyo nnyo)
Nti Maama wange weeraba
Saagala nkusiibule mummy (saagala)
Ntya nnyo okukulekawo dear
(Ntya nnyo nnyo nnyo)
Kinnuma okukikugamba kale
(Kinnuma okukikugamba)
Nti Maama wange weeraba
Saagala nkusiibule mummy (maama)
Ntya nnyo okukulekawo dear
Kinnuma okukikugamba kale
(Kinnuma okukikugamba dear)
Nti maama wange weeraba
Saagala nkusiibule mummy
(Saagala nkusiibule)
Ntya nnyo okukulekawo dear
Kinnuma okukikugamba kale
Nti Maama wange weeraba