Lwaki okaaba?
Ddala lwaki wennyamira?
Tetugaanye olina ebigaanyi
Ensi olaba efunze
Wadde onyigibwa buli ludda
Kimanye ssi ggwe asoose
Newankubadde ffe tusirika
Fenna tewali njawulo
Ekituwa ffe ku ssuubi
Ne tulema okwennyamira
Ne bwe tuba nga tunyigibwa
Ky’ekigambo kya Yesu
Ekigambo ekyo kya ssuubi
Nti mugume nze mpangudde
Olinda ki okumwekwata?
Jangu oddemu essuubi

Ebintu by’olabye bingi
Ebikumalamu essuubi n’obuusabuusa
Okupakasa ddala okazana
Naye era bambi ensimbi tewera
Olimbibwa mukwano bw’obatunuulira
Abo abalala b’oyitako
Nga beevuga kale ate ggwe
Nga n’akagaali tokalina
Mazima nootakimanya nti omuntu
Abeera ne shillings ezijjuza loole
Naye otulo ssebo otufuna
Nga gayiso ge gamuggundwa

Lwaki okaaba?
Ddala lwaki wennyamira?
Tetugaanye olina ebigaanyi
Ensi olaba efunze
Wadde onyigibwa buli ludda
Kimanye ssi ggwe asoose
Newankubadde ffe tusirika
Fenna tewali njawulo
Ekituwa ffe ku ssuubi
Ne tulema okwennyamira
Ne bwe tuba nga tunyigibwa
Ky’ekigambo kya Yesu
Ekigambo ekyo kya ssuubi
Nti mugume nze mpangudde
Olinda ki okumwekwata?
Jangu oddemu essuubi

N’omukaabira Mukama n’omuwozesa
Omubuuza lwaki ggwe mu nsi?
Olina ebizibu nfaafa
Olina obuyinike
Olwo ne weekubagiza emirimu n’ogirekayo
Okusaba n’okusuula eri
Naye ekyo bambi kya ttabbu, weddeko
Kubanga lw’olituukako e Mulago
Ogenda kumanya nti oyo Katonda gw’owozesa
Alina ekigendererwa gyoli, era akwagala

Abakuyitako nga beekaza
N’olowooza nti ensi baagifunza
Obalaba kwambala sso nno
Eka eyo bambi n’oluusi basula!
Lw’olifunayo omuntu n’akubuulira
Ebyo ebimusuza atudde!
Olimanya nti mu nsi eno
Omuntu asaanye okumatira ne ky’alina
Ebizibu osobola bibyo
Nze nsobola byange osaanira okkirize
Nti byonna Mukama y’apanga
Y’amanyi ebinaavaamu

Lwaki?
Lwaki okaaba?
Ddala lwaki wennyamira?
Tetugaanye olina ebigaanyi
Ensi olaba efunze
Wadde onyigibwa buli ludda
Kimanye ssi ggwe asoose
Newankubadde ffe tusirika
Fenna tewali njawulo (ekituwa)
Ekituwa ffe ku ssuubi
Ne tulema okwennyamira
Ne bwe tuba nga tunyigibwa
Ky’ekigambo kya Yesu
Ekigambo ekyo kya ssuubi
Nti mugume nze mpangudde
Olinda ki okumwekwata?
Jangu oddemu essuubi

Olimbibwa mukwano bw’obatunuulira
Abo abalala b’oyitako
Nga beevuga kale ate ggwe
Nga n’akagaali tokalina
Mazima nootakimanya nti omuntu
Abeera ne shillings ezijjuza loole
Naye otulo ssebo otufuna
Nga gayiso ge gamuggundwa!
Olwo ne weekubagiza emirimu n’ogirekawo
Okusaba n’okusuula eri
Naye ekyo bambi kya ttabbu, weddeko
Kubanga lw’olituukako e Mulago
Ogenda kumanya nti oyo Katonda gw’owozesa
Alina ekigendererwa gyoli, era akwagala
Lw’olifunayo omuntu n’akubuulira
Ebyo ebimusuza atudde!
Olimanya nti mu nsi eno
Omuntu asaanye okumatira ne ky’alina
Ebizibu osobola bibyo
Nze nsobola byange osaanira okkirize
Nti byonna Mukama y’apanga
Y’amanyi ebinaavaamu

Submit Corrections

One thought on “Lwaki Okaaba Lyrics – Ambassadors of Christ Choir”

Leave a Reply

Your email address will not be published.