Mutebi oli mpologoma
Gwe nannyinimu Kabaka aah
Oli Lukeberwa
Muzzukulu wa Muteesa
Mwanga ne Chwa (ayi Beene)
Yeggwe, mutabani wa Luwangula Muteesa
Tukulaba ne tusanyuka
Katukole, n’obuwangwa tubulwanirire
Ku mulembe gwo Omuwenda

Ssaabasajja Kabaka
Oli ntabiro etugatta ng’Abaganda
Buli Lw’osiima
N’olabikako eno gyeturi kitukolera olunaku
Ffe, okutunula ku Kabaka waffe
Bingi biwona
Ennyonta n’enjala ne biwona
Tulinnya ne ku miti oluusi okulengerako

Mutebi oli mpologoma
Gwe nannyinimu Kabaka aah
Oli Lukeberwa
Muzzukulu wa Muteesa
Mwanga ne Chwa (ayi Beene)
Yeggwe, mutabani wa Luwangula Muteesa
Tukulaba ne tusanyuka
Katukole, n’obuwangwa tubulwanirire
Ku mulembe gwo Omuwenda

Ssaabasajja Kabaka
Ekikunakuwaza naffe eno kitunakuwaza
Bwatyo bwe yakutonda
Obeera mu musaayi gwaffe tukuwulira Beene
Gwe, olamula na bumalirivu
Teri akuwakanya, teri ayanukula ssebo
Empologoma ensajja bw’ewuuna teba afuguma

Mutebi oli mpologoma
Gwe nannyinimu Kabaka aah
Oli Lukeberwa
Muzzukulu wa Muteesa
Mwanga ne Chwa (ayi Beene)
Yeggwe, mutabani wa Luwangula Muteesa
Tukulaba ne tusanyuka
Katukole, n’obuwangwa tubulwanirire
Ku mulembe gwo Omuwenda

Mwali nnamunswa mwali
Ky’ekitusanyusa ffe ne tubinuka amasejjere
Eyo e Mengo gyali
Ayogeza buyinza, tumuwa ekitiibwa
Yee, omwana wa Muteesa alina obuyinza
Yekka gwe tuwuliriza
Talina amusinga Kabaka waffe

Mutebi oli mpologoma
Gwe nannyinimu Kabaka aah
Oli Lukeberwa
Muzzukulu wa Muteesa
Mwanga ne Chwa (ayi Beene)
Yeggwe, mutabani wa Luwangula Muteesa
Tukulaba ne tusanyuka
Katukole, n’obuwangwa tubulwanirire
Ku mulembe gwo Omuwenda

Naffe ab’e Buddo
Guno omukisa wagutuwadde tukulabe
Era tukwose buliro
Bba ffe twafuna essanyu
Gwe bwe wasiima tujje
Tuyimbe wano mu maaso go
Ssebo tetwebaka tulo
Guno mulembe gwaffe
Tukuze ku mulembe gwo
Ssaabasajja, weebale okutulera

Mutebi oli mpologoma
Gwe nannyinimu Kabaka aah
(Kabaka waffe)
Oli Lukeberwa
Muzzukulu wa Muteesa
Mwanga ne Chwa (Ayi Beene)
Yeggwe, mutabani wa Luwangula Muteesa (yeggwe)
Tukulaba ne tusanyuka (tukulaba ne tusanyuka)
Katukole, n’obuwangwa tubulwanirire (yiiii)
Ku mulembe gwo Omuwenda

Mutebi oli mpologoma
Gwe nannyinimu Kabaka aah
(Kabaka waffe)
Oli Lukeberwa
Muzzukulu wa Muteesa
Mwanga ne Chwa (Ayi Beene)
Yeggwe, mutabani wa Luwangula Muteesa (yeggwe)
Tukulaba ne tusanyuka (tukulaba ne tusanyuka)
Katukole, n’obuwangwa tubulwanirire (yiiii)
Ku mulembe gwo Omuwenda

Submit Corrections

Leave a comment